|
| 1 |
|
| Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu n’abafu omusango, era n’olw’okujja kwe, n’olw’obwakabaka bwe, |
|
| 2 |
|
| buuliranga ekigambo kya Katonda, ng’oli mwetegefu mu kiseera ekituufu n’ekitali kituufu, ng’olaga ebikwekeddwa, ng’onenya, ng’ozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, n’okubonaabona okungi, n’okuyigiriza. |
|
| 3 |
|
| Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olw’okugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. |
|
| 4 |
|
| Baligaana okuwuliriza eby’amazima, ne bagoberera enfumo obufumo. |
|
| 5 |
|
| Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ng’okola omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, ng’otuukiririza ddala obuweereza bwo. |
|
| 6 |
|
| Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange eky’okuva ku nsi kituuse. |
|
| 7 |
|
| Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. |
|
| 8 |
|
| Kye nsigazza kwe kufuna engule ey’obutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gy’alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n’abo bonna abeegomba okujja kwe. |
|
| 9 |
|
| Fuba okujja amangu gye ndi. |
|
| 10 |
|
| Kubanga Dema yandekawo ng’ayagala omulembe gwa kaakano, n’agenda e Sessaloniika. Kulesuke yagenda Ggalatiya ne Tito n’agenda e Dalumatiya. |
|
| 11 |
|
| Lukka yekka y’ali nange. Ggyayo Makko omuleete, kubanga annyamba nnyo mu buweereza. |
|
| 12 |
|
| Tukiko n’amutuma mu Efeso. |
|
| 13 |
|
| Bw’obanga ojja ondeeteranga omunagiro gwange gwe naleka e Tulowa ewa Kappo. Ondeeteranga n’emizingo gy’ebitabo, na ddala egyo egy’amaliba. |
|
| 14 |
|
| Alegezanda, omuweesi w’ebikomo yankola ebyettima bingi. Mukama alimusasula olw’ebikolwa bye. |
|
| 15 |
|
| Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe. |
|
| 16 |
|
| Mu kuwoza kwange okwasooka, tewaali n’omu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa. |
|
| 17 |
|
| Kyokka Mukama waffe yabeera nange, n’ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bw’atyo n’anziggya mu kamwa k’empologoma. |
|
| 18 |
|
| Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina. |
|
| 19 |
|
| Nnamusiza Pulisika ne Akula n’ab’omu maka ga Onesifolo. |
|
| 20 |
|
| Erasuto yasigalayo mu Kkolinso, ate Tulofiimo namuleka mu Mireeto nga mulwadde. |
|
| 21 |
|
| Fuba ojje ng’ebiseera by’obutiti tebinnaba kutuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n’abooluganda bonna. |
|
| 22 |
|
| Mukama waffe abeerenga n’omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. |
|
|
|
|