BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Pawulo, omuweereza wa Katonda, era Omutume wa Yezu Kristu, olw'okutuusa abalonde b'Omukama ku kukkiriza ne ku kumanya amazima agatuusa ku butuukirivu, |
| 2 |
| olw'okusuubira obulamu obutaggwaawo Katonda oyo atalimba bwe yasuubiza okuva edda n'edda, |
| 3 |
| ate akadde bwe kaatuuka, n'amanyisa ekigambo kye nga kirangirirwa, omulimu gwennyini ogwankwasibwa mu kiragiro ekyava ewa Katonda Mulokozi waffe. |
| 4 |
| Ya Tito, mutabani wange olw'okukkiriza okutugatta awamu; eneema, okusaasira, n'emirembe okuva ewa Katonda Taata n'Omukama Kristu Yezu Mulokozi waffe. |
| 5 |
| Eno ye nsonga eyakundesa mu Kureti nti otereeze ebyali bisigalidde, olondere abakadde mu buli kibuga, nga bwe nali nkulagidde. |
| 6 |
| Bw'abaawo, abeere omuntu ataliiko kimuvunaanibwa, nga wa mukazi omu, ng'alina abaana abakkiriza, abataliiko musango gwa busaasaanyi oba ogw'obutawulira. |
| 7 |
| Ate ye omulabirizi, asaanye abeere nga taliiko musango ng'omuweereza wa Katonda, nga si wa lunkulu, tasunguwala mangu, si mutamiivu, si mukambwe, talulunkanira kufuna, |
| 8 |
| wabula ng'ayaniriza abagenyi, ayagala ekirungi, mwegendereza, muntumulamu, musomi, amanyi okwefuga, |
| 9 |
| anywerera ddala ku kigambo eky'amazima nga bwe kyayigirizibwa, alyoke asobole okugumya abalala n'enjigiriza ennamu n'okukkirizisa abo abagiwakanya. |
| 10 |
| Bangi kati ab'eddalu, aboogera omutali nsa, abalimba, naddala abava mu batayirire. |
| 11 |
| Bateekwa okusirisibwa, kubanga batabangudde amaka mangi nga bayigiriza ebintu bye batandiyigirizza olw'okugoba amagoba omutali. |
| 12 |
| N'omu ku bo, ate omulanzi waabwe, yajulira nti: “Abakureti bulijjo balimba, bisolo bigwagwa, ngajaba zikaliira.” |
| 13 |
| Kye yajulira kino kya mazima; awo nno bakangavvule babe balamu mu kukkiriza, |
| 14 |
| ne batadda mu kuwuliriza nfumo za Kiyudaaya na biragiro bya bantu abaava ku mazima. |
| 15 |
| Ku balongoofu byonna biba birongoofu, naye ku abo aboonoonefu, abatakkiriza, teri kitukuvu, anti nga n'emitima gyabwe n'emmeeme zaabwe byayonooneka. |
| 16 |
| Bagamba nti bamanyi Katonda, naye mu bye bakola byennyini mwe bamwegaanira; abo beenyinyalwa, si bawulize, abatagwanidde kintu kirungi na kimu. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/titus/001.mp3
3
1