|
| 1 |
|
| Naye ggwe yigirizanga ebisaanira okuyigiriza okw'obulamu. |
|
| 2 |
|
| Kubirizanga abasajja abakulu babeerenga bateefu, baabuvunaanyizibwa, bategeevu, abalina okukkiriza, okwagala, era abanywevu. |
|
| 3 |
|
| Abakazi abakulu nabo bakubirizenga babeerenga n'empisa ezisaanira mu bantu, nga tebawaayiriza, era nga si batamiivu, naye abayigiriza ebirungi; |
|
| 4 |
|
| balyoke batendeke abakazi abato okwagalanga babbaabwe, n'abaana baabwe, |
|
| 5 |
|
| era babeerenga bategeevu, nga si benzi, abakola emirimu mu maka gaabwe, ab'ekisa, era abagondera babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvumibwa. |
|
| 6 |
|
| N'abasajja abavubuka baakubirizenga okubeera abasobola okwefuga mu byonna. |
|
| 7 |
|
| Mu bigambo byonna ggwe beera ekyokulabirako ekirungi mu bikolwa, ne mu kuyigiriza kwo ng'olaganga obugolokofu, obumalirivu, |
|
| 8 |
|
| nga buli ky'oyogera tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo atali ku lulwo alyoke akwatibwenga ensonyi, nga talina kibi kya kutwogerako. |
|
| 9 |
|
| Kubirizanga abaddu okugonderanga bakama baabwe, nga basiimibwanga mu byonna; tebateekwa kuba bajeemu, |
|
| 10 |
|
| nga tebabba, naye nga beesigwa ddala mu byonna; balyoke bayonjenga okuyigiriza kw'Omulokozi waffe Katonda mu byonna. |
|
| 11 |
|
| Kubanga ekisa kya Katonda kirabise, nga kireetera abantu bonna obulokozi, |
|
| 12 |
|
| nga kitubuulirira okugaananga obutatya Katonda n'okwegomba okw'omu nsi, tulyoke tubeerenga abateefu, abatuukirivu, era abatya Katonda mu nsi eno, |
|
| 13 |
|
| nga tulindirira essuubi ery'omukisa n'okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo; |
|
| 14 |
|
| eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwonna, era yeerongooseze eggwanga ery'envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi. |
|
| 15 |
|
| Yogeranga ebyo, obibuulirirenga, onenyenga n'obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga. |
|
|
|
|