Luganda Bible
|
| 1 |
| Obajjukizenga okugonderanga abafuga n'abalina obuyinza, okuwuliranga, okweteekerateekeranga buli kikolwa kyonna ekirungi, |
| 2 |
| obutavumanga muntu yenna, obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obukkakkamu bwonna eri abantu bonna. |
| 3 |
| Kubanga era naffe edda twali basirusiru, abatawulira, abalimbibwa, nga tuweereza okwegomba n'ebinyumu ebitali bimu, nga tubeera mu ttima n'obuggya, abeekyayisa, era nga tukyawagana. |
| 4 |
| Naye obulungi bw'Omulokozi waffe Katonda n'okwagala kwe eri abantu bwe byalabika, |
| 5 |
| n'atulokola, si lwa bikolwa eby'omu butuukirivu bye twakola ffe wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu, |
| 6 |
| gwe yatufukako olw'obugagga, ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waffe; |
| 7 |
| nga tumaze okuweebwa obutuukirivu olw'ekisa kye oyo, tulyoke tufuuke abasika mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. |
| 8 |
| Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino njagala ggwe okukakasizanga ddala, abakkiriza Katonda bajjukirenga okussaako omwoyo ku bikolwa ebirungi. Ebyo birungi, era bigasa abantu: |
| 9 |
| naye empaka ez'obusiru n'ebitabo ebirimu endyo z'okuzaalibwa n'ennyombo n'okuwakanira amateeka obyewalenga; kubanga tebiriiko kye bigasa so tebiriimu. |
| 10 |
| Omuntu omukyamu, bw'omalanga okumubuulirira omulundi ogw'olubereberye n'ogw'okubiri, omugaananga, |
| 11 |
| ng'omanya ng'ali ng'oyo akyamizibwa, era ayonoona, nga yeesalira yekka omusango. |
| 12 |
| Bwe ntumanga Atema gy'oli oba Tukiko, fuba okujja gye ndi mu Nikopoli: kubanga nteesezza okumalira eyo ebiro eby'empewo. |
| 13 |
| Fuba okubasibirira Zeena ow'amateeka ne Apolo, baleme okubulwa ekintu. |
| 14 |
| Era abaffe bayige okussangako omwoyo ku bikolwa ebirungi mu bigambo ebyetaagibwa, balemenga obutabala. |
| 15 |
| Abali nange bonna bakulamusizza. Olamuse abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/titus/003.mp3
3
3