BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Bajjukize okugondera abaami n'abali mu buyinza, okuba abawulize, abeetegefu okukola buli kirungi, |
| 2 |
| nga tebawaayiriza, tebayombayomba, bateefu, ab'eggonjebwa eri buli muntu. |
| 3 |
| Olumu naffe twali basiru, nga tetuwulira, nga tuwubisiddwa, nga tufuuse baddu ba bika ebitali bimu ebya maddu n'amasanyu; mu bulamu bwaffe nga tuli ba kitimatima na buggya; nga tukyayiddwa ate naffe nga tukyawaganye; |
| 4 |
| naye ekisa n'okwagala kwa Katonda Mukama waffe bwe byalabika, |
| 5 |
| n'atulokola, si lwa kubeera bikolwa byaffe bye twali tukoze eby'obutuukirivu, naye lwa kubeera kisa kye, ng'ayita mu kunaazibwa okw'okuzaalibwa ogwokubiri n'okuzzibwa obuggya mu Mwoyo Mutuukirivu, |
| 6 |
| gwe yatuyiira mu bungi ng'ayita mu Yezu Kristu Mulokozi waffe; |
| 7 |
| eneema ye ng'emaze okutufuula abatuukirivu, tulyoke tufuuke basika abalina essuubi ery'obulamu obutaggwaawo. |
| 8 |
| Ekyogerwa kino kya mazima. Njagala bino obikkaatirize, abo abakkirizza Katonda bafeeyo ku kukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era biyamba abantu. |
| 9 |
| Naye weewale endasano ez'ekisiru, n'okunonooza endyo, okuyomba n'okukaayana ku Tteeka, kubanga bino tebiganyula era temuli kantu. |
| 10 |
| Omuntu aleeta enjawukana ng'omaze okumulabula ogusooka n'ogwokubiri, mulekere ddala. |
| 11 |
| Manya nti ow'engeri eyo mukyamu era mwonoonyi, yeesalidde yekka omusango. |
| 12 |
| Nga mmaze okukusindikira Aritema oba Tukiko, sala gonna onsisinkane e Nikopoli, kubanga nsazeewo obudde obw'obutiti okubumala eyo. |
| 13 |
| Fuba nnyo okuyamba Zena munnamateeka ne Apollo mu lugendo lwabwe, era laba nga tebajula kantu. |
| 14 |
| Abantu baffe balina okuyiga okukola emirimo emirungi, basobole okudduukirira mu bwetaavu obwa mangu, baleme kubeera ntagasa. |
| 15 |
| Bonna be ndi nabo eno bakutumidde. Ndabira abo abatwagala mu kukkiriza. Eneema ebeere nammwe mwenna. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/titus/003.mp3
3
3