Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi n’ab’obuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. |
| 2 |
| Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna. |
| 3 |
| Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n’amasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era ab’obuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana. |
| 4 |
| Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe n’okwagala kwe bwe byalabika, |
| 5 |
| n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu, |
| 6 |
| gwe yatuyiwako mu bungi ku lwa Yesu Kristo Omulokozi waffe. |
| 7 |
| Bwe tulimala okutukuzibwa olw’ekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. |
| 8 |
| Ekigambo ekyo kyesigwa, era nkukuutira ebyo obinywezenga abakkiriza Katonda bajjukirenga okukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era bigasa abantu. |
| 9 |
| Naye weewalenga empaka ez’obusirusiru, n’okukaayana ku nkalala eziraga obuzaale bw’abantu, n’ennyombo, n’entalo ebikwata ku mateeka; kubanga tebiriiko kye bigasa era tebiriimu nsa. |
| 10 |
| Omuntu ayawulayawula mu bantu bw’omalanga okumulabula omulundi ogusooka, era n’ogwokubiri, omwewalanga, |
| 11 |
| kubanga omuntu ng’oyo aba amaze okukyamizibwa mu kibi, era nga yeesalira yekka omusango. |
| 12 |
| Bwe nkutumiranga Atema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu biseera eby’obutiti. |
| 13 |
| Fuba okusibirira Zeena munnamateeka ne Apolo obatume babe nga tebaliiko kye beetaaga. |
| 14 |
| Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa. |
| 15 |
| Bonna abali nange bakulamusizza. Olamuse abo bonna abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/titus/003.mp3
3
3