Luganda Bible
|
| 1 |
| Katonda edda bwe yayogereranga mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi eri bajjajjaffe mu bannabbi, |
| 2 |
| mu nnaku zino ez'oluvannyuma yayogerera naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era gwe yatonza ebintu byonna; |
| 3 |
| oyo bw'ali okumasamasa kw'ekitiibwa kye n'ekifaananyi kye ddala bw'ali, era bw'asitula ebintu byonna n'ekigambo eky'obuyinza bwe, bwe yamala okukola eky'okunaaza ebibi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'Obukulu waggulu; |
| 4 |
| ng'asinga obulungi bamalayika bw'ati nga bwe yasikira erinnya eribakira bo. |
| 5 |
| Kubanga ani ku bamalayika gwe yali abuuliddeko nti Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe? era nate nti Nze nnaabeeranga Kitaawe gy'ali, Naye anaabeeranga Mwana gye ndi? |
| 6 |
| Era nate bw'aleeta omubereberye mu nsi, ayogera nti Era bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga. |
| 7 |
| Era ayogera ku bamalayika nti Afuula bamalayika be empewo, N'abaweereza be ennimi z'omuliro: |
| 8 |
| naye ku Mwana ayogera nti Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe; N'omuggo ogw'obugolokofu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo. |
| 9 |
| Wayagala obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyavudde akufukako Amafuta ag'okusanyuka okusinga banno. |
| 10 |
| Era nti Ggwe, Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy'ensi, N'eggulu mulimu gwa mikono gyo: |
| 11 |
| Ebyo biriggwaawo; naye ggwe oli wa lubeerera: N'ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo; |
| 12 |
| Era olibizinga ng'essuuka, Ng'ekyambalo, ne biwaanyisibwa: Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegiriggwaawo. |
| 13 |
| Naye ku malayika ki gwe yali ayogeddeko nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo? |
| 14 |
| Bonna si gy'emyoyo egiweereza, nga gitumibwa okuweereza olw'abo abagenda okusikira obulokozi? |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/hebrews/001.mp3
13
1