|
| 1 |
|
| Mu ngeri nnyingi ez'enjawulo edda, Katonda yayogereranga eri bajjajjaffe mu bannabbi, |
|
| 2 |
|
| naye mu nnaku zino ez'oluvannyuma ayogedde naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era mu ye mwe yatondera ebintu byonna. |
|
| 3 |
|
| Oyo alaga ekitiibwa kya Katonda era n'ekifaananyi kye ddala bw'ali, era abeezaawo buli kintu n'ekigambo eky'obuyinza bwe. Bwe yamala okukola eky'okunaaza ebibi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'Obukulu waggulu; |
|
| 4 |
|
| ng'asingira ddala obukulu bamalayika bwe yaweebwa erinnya erisingira ddala agaabwe. |
|
| 5 |
|
| Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy'ali, Naye anaabeeranga mwana gye ndi?” |
|
| 6 |
|
| Era nate bw'aleeta omubereberye mu nsi, ayogera nti, “Era bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.” |
|
| 7 |
|
| Era ayogera ku bamalayika nti, “Afuula bamalayika be empewo, N'abaweereza be ennimi z'omuliro.” |
|
| 8 |
|
| Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo, ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe; N'omuggo ogw'obutuukirivu, gwe muggo ogw'obwakabaka bwo. |
|
| 9 |
|
| Wayagala obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyavudde akufukako Amafuta ag'okusanyuka okusinga banno.” |
|
| 10 |
|
| Era ayongera n'agamba nti, “Ggwe, Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy'ensi, N'eggulu mulimu gwa mikono gyo; |
|
| 11 |
|
| Ebyo biriggwaawo; naye ggwe oli wa lubeerera; N'ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo; |
|
| 12 |
|
| Era olibizinga ng'essuuka, Ng'ekyambalo, ne biwaanyisibwa. Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegirikoma.” |
|
| 13 |
|
| Ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo?” |
|
| 14 |
|
| Bamalayika bonna si gy'emyoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi? |
|
|
|
|