|
| 1 |
|
| Noolwekyo ng’ekisuubizo eky’okuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu. |
|
| 2 |
|
| Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa. |
|
| 3 |
|
| Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti, “Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ” Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kw’ensi. |
|
| 4 |
|
| Kubanga waliwo w’ayogerera nti, “Katonda bwe yamala okukola emirimu gye gyonna n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu.” |
|
| 5 |
|
| Ayongera n’agamba nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.” |
|
| 6 |
|
| Kyaterekerwa abamu okuyingiramu, ate ng’abo abaasooka okubuulirwa Enjiri, tebaayingira olw’obujeemu. |
|
| 7 |
|
| Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, n’alutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe. |
|
| 8 |
|
| Kubanga singa Yoswa yabatwala mu kifo eky’okuwummula, Katonda teyandiyogedde ku lunaku olulala olw’okuwummula.” |
|
| 9 |
|
| Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka. |
|
| 10 |
|
| Kubanga oyo ayingira mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye nga Katonda bwe yawummula ng’amaze emirimu gye. |
|
| 11 |
|
| Noolwekyo tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna alemenga kugoberera ekyokulabirako ekibi eky’abajeemu. |
|
| 12 |
|
| Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima. |
|
| 13 |
|
| Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu. |
|
| 14 |
|
| Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula. |
|
| 15 |
|
| Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna. |
|
| 16 |
|
| Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe. |
|
|
|
|