|
| 1 |
|
| Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu by’omwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ng’okwenenya ebikolwa ebireeta okufa, by’ebikolwa eby’obulombolombo, naye tuteekwa n’okuba n’okukkiriza mu Katonda. |
|
| 2 |
|
| Tulekeraawo okuyigiriza obulombolombo obw’okubatizibwa, n’obw’okussibwako emikono, n’enjigiriza ey’okuzuukira kw’abafu, n’okusalirwa omusango ogw’olubeerera. |
|
| 3 |
|
| Katonda nga bw’asiima, tukule mu mwoyo. |
|
| 4 |
|
| Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi eby’omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, |
|
| 5 |
|
| ne bamanya obulungi bw’ekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi ag’emirembe egigenda okujja, |
|
| 6 |
|
| naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu. |
|
| 7 |
|
| Ettaka ligasa omulimi, bwe lifuna obulungi enkuba, ne lisigibwamu ensigo era ne muvaamu ebibala ebirungi. Ne Katonda aliwa omukisa. |
|
| 8 |
|
| Naye bwe libaza amatovu, n’amaggwa, ettaka eryo teriba lya mugaso liba kumpi n’okukolimirwa. Ku nkomerero, ebimezeeko byokebwa. |
|
| 9 |
|
| Naye abaagalwa, newaakubadde twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusa. Tumanyi nga mulina ebintu ebirungi era mukola ebintu ebiraga nti muli mu kkubo ery’obulokozi. |
|
| 10 |
|
| Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, n’okwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza. |
|
| 11 |
|
| Era twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okulaganga obunyiikivu obwo okutuusiza ddala ku nkomerero, lwe mulifuna ekyo kye musuubira. |
|
| 12 |
|
| Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng’abo abakkiriza era abagumiikiriza ne bafuna ekyasuubizibwa. |
|
| 13 |
|
| Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, nga bwe wataali mulala gw’ayinza kwerayirira amusinga, yeerayirira yekka. |
|
| 14 |
|
| Yalayira ng’agamba nti, “Ndikuweera ddala omukisa, era n’okukwaza nnaakwazanga.” |
|
| 15 |
|
| Bw’atyo Ibulayimu bwe yalindirira n’obugumiikiriza, n’aweebwa ekyasuubizibwa. |
|
| 16 |
|
| Abantu balayira omuntu abasinga obukulu, ku nkomerero kye balayidde kye kisalawo. |
|
| 17 |
|
| Ne Katonda bw’atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng’ayagala okukakasiza ddala abasika b’ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza. |
|
| 18 |
|
| Katonda yakikola bw’atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, nti akuuma ekisuubizo kye awamu n’ekirayiro kye. Talimba. Noolwekyo ffe abaddukira gy’ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza. |
|
| 19 |
|
| Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ng’ennanga bw’enyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda w’eggigi. |
|
| 20 |
|
| Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu ow’emirembe gyonna, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli. |
|
|
|
|