|
| 1 |
|
| N'olwekyo katuleke ebyo ebisookerwako okuyigiriza Kristo, tweyongere mu kukula mu kukkiriza, kuba twabatekerawo dda omusingi ogw'okwenenya ebikolwa ebifu n'okukkiriza Katonda. |
|
| 2 |
|
| Twabayigiriza dda eby'okubatizibwa, eby'okussibwako emikono, eby'okuzuukira kw'abafu, n'eby'omusango ogutaggwaawo. |
|
| 3 |
|
| Era tunaakola bwe tutyo Katonda nga bw'anayagala. |
|
| 4 |
|
| Kubanga kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, |
|
| 5 |
|
| ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag'emirembe egigenda okujja, |
|
| 6 |
|
| ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw'okwenenya. Kuba baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu. |
|
| 7 |
|
| Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n'ebala ebibala ebibasaanira abo ababirima, efuna mukisa okuva eri Katonda, |
|
| 8 |
|
| naye bw'ebala amaggwa n'amatovu, tesiimibwa era eba kumpi n'okukolimirwa, ku nkomerero ebimezeeko byokebwa. |
|
| 9 |
|
| Naye, abaagalwa, newakubadde twogedde bwe tutyo, mmwe tetubabuusabuusa, tumanyi nga mulina ebintu ebirungi ebiraga nga muli mu bulokozi. |
|
| 10 |
|
| Kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n'okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza. |
|
| 11 |
|
| Era twagala nnyo buli muntu ku mmwe okulaganga obunyiikivu obwo olw'okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero; |
|
| 12 |
|
| mulemenga okubeera abagayaavu, naye mube ng'abo abakkiriza era abagumikiriza ne bafuna ebyasuubizibwa. |
|
| 13 |
|
| Kubanga, Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, bwe watali gw'ayinza kulayira amusinga obukulu, ne yeerayira yekka |
|
| 14 |
|
| ng'ayogera nti, “Mazima ndikuwa omukisa, nnaakwazanga.” |
|
| 15 |
|
| Bw'atyo Ibulayimu bwe yamala okugumiikiriza n'aweebwa ekyasuubizibwa. |
|
| 16 |
|
| Kubanga abantu balayira asinga obukulu, era mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro bwe bukakafu obusalawo. |
|
| 17 |
|
| Ne Katonda bw'atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng'ayagala okukakasiza ddala abasika b'ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza. |
|
| 18 |
|
| Katonda yakikola bw'atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, Katonda by'atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n'ekitugumya ekinywevu ffe abaddukira gy'ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza. |
|
| 19 |
|
| Ebyo bye binyweza ddala emmeeme zaffe ng'essika ery'obulamu, essuubi eritabuusibwabuusibwa era erinywevu, era eriyingira munda w'eggigi; |
|
| 20 |
|
| Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka kabona asinga obukulu emirembe gyonna ng'olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli. |
|
|
|
|