|
| 1 |
|
| Baganda bange, bangi mu mmwe muleme kuba bayigiriza, kubanga mumanyi nti ffe abayigiriza tulisalirwa omusango n'obukambwe okusinga abalala. |
|
| 2 |
|
| Ffenna emirundi mingi tusobya. Naye oba nga waliwo omuntu atasobya mu by'ayogera, oyo aba atuukiridde, era asobola okufuga omubiri gwe gwonna. |
|
| 3 |
|
| Tuteeka ebyuma mu kamwa k'embalaasi, ziryoke zituwulire, ne tuzitwala gye twagala. |
|
| 4 |
|
| N'amaato nago, newaakubadde manene, enkasi entono ennyo ye egagoba ne gagenda yonna yonna omugoba gy'aba ayagala. |
|
| 5 |
|
| N'olulimi nalwo bwe lutyo: newaakubadde katundu katono ak'omubiri, naye luyinza okwenyumiririza mu bingi. Lowooza ku kibira ekinene bwe kiyinza okwokebwa akaliro akatono. |
|
| 6 |
|
| N'olulimi muliro. Lujjudde obubi. Kitundu kya mubiri gwaffe, naye lwonoona omubiri gwonna. Luteekera ebitonde byonna omuliro, nga luguggya mu muliro ogutazikira. |
|
| 7 |
|
| Ebika by'ensolo n'eby'ennyonyi, n'eby'ebyewalula, n'eby'ebiramu eby'omu nnyanja, bifugika, era byafugibwa dda abantu. |
|
| 8 |
|
| Naye olulimi tewali muntu ayinza kulufuga. Olulimi kye kintu ekibi, ekitafugika, ekijjudde obutwa kattira. |
|
| 9 |
|
| Lwe tutenderezesa Mukama era Kitaffe, era lwe tukolimiza abantu, abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. |
|
| 10 |
|
| Mu kamwa ke kamu, mwe muva okutendereza era n'okukolima. Baganda bange, ekyo tekigwanira kuba bwe kityo. |
|
| 11 |
|
| Ensulo y'amazzi emu eyinza okuvaamu amazzi agawooma n'agakaawa? |
|
| 12 |
|
| Baganda bange, omutiini guyinza okubala emizayiti, oba omuzabbibu okubala emitiini? Era bwe kityo n'amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi. |
|
| 13 |
|
| Mu mmwe mulimu alina amagezi n'okutegeera? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi, mu bikolwa bye ebirungi by'akola n'obwetoowaze era n'amagezi. |
|
| 14 |
|
| Naye mu mitima gyammwe bwe muba n'obuggya obw'akabi era n'okwefaako mwekka, mulemenga kwewaana n'okulimba nga muwakanya amazima. |
|
| 15 |
|
| Amagezi ag'engeri eyo tegava mu ggulu, wabula ga ku nsi, ga bantu buntu, era ga Sitaani. |
|
| 16 |
|
| Awaba obuggya n'abantu okwefaako bokka, wabaawo kutabuka era n'ebikolwa ebibi ebya buli ngeri. |
|
| 17 |
|
| Naye amagezi agava mu ggulu, okusookera ddala malongoofu, ate ga mirembe, mawombeefu, gawuliriza ensonga, gajjudde ekisa era n'ebikolwa ebirungi; meesimbu, tegaliimu bukuusa. |
|
| 18 |
|
| Obwenkanya kye kibala ekiva mu nsigo abaleesi b'emirembe gye basiga, nga bakolerera emirembe. |
|
|
|
|