N'ab'e Gibyoni ne batumira Yoswa ku lusiisira ku Girugaali nga boogera nti Toddiriza mukono gwo ku baddu bo; olinnye gye tuli mangu, otuwonye, otubeere: kubanga bakabaka bonna ab'Abamoli abatuula mu nsi ey'ensozi bakuŋŋaanidde ku ffe.
Mukama n'abaswaza mu maaso ga Isiraeri, n'abattira ddala bangi mu Gibyoni, n'abagoba mu kkubo eririnnya e Besukolooni, n'abakuba okubatuusa ku Azeka ne ku Makkeda.
Awo, bwe badduka mu maaso ga Isiraeri, ne baserengeta e Besukolooni, Mukama n'asuula amayinja amanene nga gava mu ggulu n'abakuba mu Azeka; ne bafa: abaafa amayinja ag'omuzira ne basinga bali abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala.
Awo Yoswa n'agamba Mukama ku lunaku Mukama lwe yawaayo Abamoli mu maaso g'abaana ba Isiraeri; n'ayogera mu maaso ga Isiraeri nti Enjuba, yimirira ggwe ku Gibyoni; Naawe, omwezi, mu kiwonvu Ayalooni.
Awo Yoswa n'abaana ba Isiraeri bwe baamalira ddala okutta abantu abangi ennyo, ne baggweerawo ddala, n'abaasigalawo mu bo ne bayingira mu bibuga ebiriko ebigo,
Awo, bwe baggyamu bakabaka bali ne babaleetera Yoswa, Yoswa n'ayita abasajja bonna aba Isiraeri, n'agamba abaami ab'abalwanyi abaagenda naye nti Mujje, musse ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano. Ne bajja, ne bassa ebigere byabwe mu bulago bwabwe.
Awo enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne babaggya ku miti, ne babasuula mu mpuku mwe baali beekwese, ne bateeka amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, ne kaakano.
ne bakimenya ku lunaku olwo, ne bakitta n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu n'agizikiririza ddala ku lunaku olwo; nga byonna bye yakola Lakisi.
n'akimenya ne kabaka waamu, n'ebibuga byakyo byonna; ne babitta n'obwogi bw'ekitala, ne bazikiririza ddala emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaako n'omu: nga bwe yakola Kebbulooni, bwe yakola bw'atyo Debiri, ne kabaka waamu; era nga bwe yakola Libuna, ne kabaka waamu.