Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| N’omugabo gw’ettaka ly’abaana ba Yusufu ne guva ku Yoludaani awali Yeriko ku ludda olw’ebuvanjuba olw’amazzi g’e Yeriko, okutuuka mu ddungu, n’erinnya okuva e Yeriko n’eyita mu nsi ey’ensozi n’etuuka e Beseri |
| 2 |
| N’eyita e Beseri okutuuka e Eruzi n’okuyita ku nsalo ey’Abaluki mu Atalosi |
| 3 |
| n’okukka ku luuyi olw’ebugwanjuba ku nsalo ey’Abayafuleti ku nsalo ey’e Besukolooni eky’emmanga ku Gezeri n’ekoma ku nnyanja. |
| 4 |
| Bwe batyo abaana ba Yusufu: Manase ne Efulayimu ne batwala omugabo gwabwe. |
| 5 |
| Ettaka ly’abaana ba Efulayimu ng’enju zaabwe bwe zaali eno gye lyayitanga; ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Atalosuaddali n’okutuuka ku Besukolooni ey’Ekyengulu, |
| 6 |
| ne yeeyongera ku nnyanja ne ku Mikumesasi mu bukiikakkono ne yeetooloola ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Taanasi Siiro, n’olwebuvanjuba olw’e Yanoa, |
| 7 |
| n’ekka ku Atalosi ne ku Naala n’ekwata ku Yeriko n’etuuka ku Yoludaani. |
| 8 |
| N’eva ku Tappua n’eyita ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku mugga Kana n’ekoma ku nnyanja. Bino bye bitundu ekika ky’abaana ba Efulayimu bye baagabana ng’enju zaabwe bwe zaali. |
| 9 |
| Ku bino kwaliko ebibuga n’ebyalo byakwo byonna ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu abaali mu kitundu kya Manase ebibuga byonna n’ebyalo byabwe. |
| 10 |
| Wabula tebaagoba Bakanani abaali mu Gezeri, baasigala wakati mu Efulayimu n’okutuusa leero nga balimu ng’abaddu nga bakola. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/joshua/016.mp3
24
16