Luganda Bible
|
| 1 |
| Awo emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n'eri Yoswa omwana wa Nuni n'eri emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri: |
| 2 |
| ne babagambira mu Siiro mu nsi ya Kanani nti Mukama yalagira mu mukono gwa Musa okutuwa ebibuga eby'okubeeramu, n'ebyalo ebiriraanye, (ettale ery'okulundiramu) ente zaffe. |
| 3 |
| Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi mu busika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira, ebibuga bino n'ettale lyabyo. |
| 4 |
| N'akalulu ne kavaamu enda ez'Abakokasi: n'abaana ba Alooni kabona, abaali ab'ekika ky'Abaleevi, ne baweebwa akalulu mu kika kya Yuda, ne mu kika eky'Abasimyoni, ne mu kika kya Benyamini, ebibuga kkumi na bisatu. |
| 5 |
| N'abaana ba Kokasi abalala ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Efulayimu, ne mu kika kya Ddaani, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, ebibuga kkumi. |
| 6 |
| N'abaana ba Gerusoni ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Isakaali, ne mu kika kya Aseri, ne mu kika kya Nafutaali, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase mu Basani; ebibuga kkumi na bisatu. |
| 7 |
| Abaana ba Merali ne baweebwa ng'enda zaabwe bwe zaali mu kika kya Lewubeeni, ne mu kika kya Gaadi, ne mu kika kya Zebbulooni, ebibuga kkumi na bibiri. |
| 8 |
| N'abaana ba Isiraeri ne babawa n'obululu Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyabyo, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa. |
| 9 |
| Ne babawa mu kika eky'abaana ba Yuda, ne mu kika eky'abaana ba Simyoni, ebibuga bino ebigenda okumenyebwa: |
| 10 |
| ne biba bya baana ba Alooni, ab'enda ez'Abakokasi, ab'omu baana ba Leevi: kubanga omugabo gwabwe gwe gwasooka. |
| 11 |
| Ne babawa Kiriasualuba, (Aluba oyo yali) kitaawe wa Anaki, (ye Kebbulooni), mu nsi ey'ensozi eya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde. |
| 12 |
| Naye ennimiro z'ekibuga n'ebyalo byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune okubirya. |
| 13 |
| Ne bawa abaana ba Alooni kabona Kebbulooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Libuna n'ebyalo byakyo ebiriraanye; |
| 14 |
| ne Yattiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Esutemoa n'ebyalo byakyo ebiriraanye; |
| 15 |
| ne Koloni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Debiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye; |
| 16 |
| ne Aini n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Yuta n'ebyalo byakyo ebiriraanye, (ne) Besusemesi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga mwenda mu bika ebyo ebibiri. |
| 17 |
| Ne mu kika kya Benyamini, Gibyoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Geba n'ebyalo byakyo ebiriraanye; |
| 18 |
| Anasosi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Alumoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. |
| 19 |
| Ebibuga byonna eby'abaana ba Alooni, bakabona, byali ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo, byabyo ebiriraanye. |
| 20 |
| N'enda ez'abaana ba Kokasi, Abaleevi, be baana ba Kokasi abalala, ne balya ebibuga eby'akalulu kaabwe mu kika kya Efulayimu. |
| 21 |
| Ne babawa Sekemu n'ebyalo byakyo ebiriraanye mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Gezeri n’ebyalo byakyo ebiriraanye; |
| 22 |
| ne Kibuzaimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Besukolooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. |
| 23 |
| Ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Gibbesoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; |
| 24 |
| Ayalooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. |
| 25 |
| Ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, Taanaki, n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bibiri. |
| 26 |
| Ebibuga byonna eby'enda ez'abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n'ebyalo byabyo ebiriraanye. |
| 27 |
| (Ne bawa) abaana ba Gerusoni; ab'enda ez'Abaleevi, mu kitundu eky'ekika kya Manase Golani mu Basani n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi; ne Beesutera n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bibiri. |
| 28 |
| Ne mu kika kya Isakaali, Kisioni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Daberasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; |
| 29 |
| Yalamusi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Engannimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. |
| 30 |
| Ne mu kika kya Aseri, Misali n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Abudoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; |
| 31 |
| Kerukasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Lekobu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. |
| 32 |
| Ne mu kika kya Nafutaali, Kedesi mu Ggaliraaya n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Kammasudoli n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Kalutani, n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bisatu. |
| 33 |
| Ebibuga byonna eby'Abagerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali byali ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo byabyo ebiriraanye. |
| 34 |
| (Ne bawa) enda ez'abaana ba Merali, (be) Baleevi abalala, mu kika kya Zebbulooni, Yokuneamu n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Kaluta n'ebyalo byakyo ebiriraanye, |
| 35 |
| Dimuna n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Nakalali n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. |
| 36 |
| Ne mu kika kya Lewubeeni, Bezeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Yakazi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, |
| 37 |
| Kedemosi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Mefaasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina. |
| 38 |
| Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaadi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Makanayimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; |
| 39 |
| Kesuboni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Yazeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye; byonna ebibuga bina. |
| 40 |
| Ebyo byonna byali bibuga bya baana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali, ze nda endala ez'Abaleevi; n'akalulu kaabwe kaali ebibuga kkumi na bibiri. |
| 41 |
| Ebibuga byonna eby'Abaleevi (ebyali) wakati mu butaka obw'abaana ba Isiraeri byali ebibuga amakumi ana mu munaana n'ebyalo byabyo ebiriraanye. |
| 42 |
| Ebibuga ebyo byonna byalina ebyalo byabyo ebibyetoolodde: bwe byali bwe bityo ebibuga ebyo byonna |
| 43 |
| Mukama bwe yawa bw'atyo Abaisiraeri ensi yonna gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe; ne bagirya, ne bagibeeramu: |
| 44 |
| Mukama n'abawummuza enjuyi zonna, nga byonna bye yalayirira bajjajjaabwe: so tewaali muntu mu balabe baabwe bonna eyayimirira mu maaso gaabwe; Mukama yawaayo abalabe baabwe bonna mu mukono gwabwe. |
| 45 |
| Tewali kigambo ekitaatuuka mu birungi byonna Mukama bye yagamba ennyumba ya Isiraeri; byonna byatuuka. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/joshua/021.mp3
24
21