Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo abakulu b'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Leevi, ne bagenda eri Eleyazaari kabona, n'eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n'eri abakulu b'ennyumba z'ab'omu bika byonna ebya Yisirayeli. |
| 2 |
| Ne babagambira mu Siilo mu nsi y'e Kanaani nti: “Mukama yalagira ng'ayita mu Musa okutuwa ebibuga eby'okubeerangamu, n'ettale lyakwo ery'okulundirangamu ensolo zaffe.” |
| 3 |
| Awo Abayisirayeli ne bawa Abaleevi ebibuga ebimu n'ettale lyakwo, mu bitundu byabwe, nga Mukama bwe yalagira. |
| 4 |
| Abaleevi ab'ennyumba ya Kohati be baasooka okuweebwa ebibuga mu kalulu. Abasibuka mu Arooni kabona, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Yuda n'ekya Simyoni n'ekya Benyamiini. |
| 5 |
| Abakohati abalala ne baweebwa ebibuga kkumi okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Efurayimu n'ekya Daani n'ekya Manasse. |
| 6 |
| Ab'ennyumba ya Gerusooni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Yissakaari n'ekya Aseri n'ekya Nafutaali n'ekya Manasse mu Basani. |
| 7 |
| Ab'ennyumba ya Merari ne baweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva mu bitundu eby'Ebika: ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekya Zebbulooni. |
| 8 |
| Abayisirayeli baakuba bululu okuwa Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyakwo, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa. |
| 9 |
| Gano ge mannya g'ebibuga ebyaggyibwa mu bitundu bya Yuda ne Simyoni ne biweebwa |
| 10 |
| bazzukulu ba Arooni, ab'ennyumba ya Kohati ow'omu Kika kya Leevi. Be baasooka okukubirwa akalulu. |
| 11 |
| Ne babawa Kiriyati Aruba (Aruba ye yali kitaawe wa Anaki), kati ekiyitibwa Heburooni, mu nsi ey'ensozi eya Yuda, awamu n'ettale lyakwo. |
| 12 |
| Naye ennimiro z'ekibuga ekyo n'ebyalo byakyo byali byaweebwa dda Kalebu, mutabani wa Yefunne okuba ebibye. |
| 13 |
| Okwongereza ku Heburooni, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu, bino bye bibuga ebyaweebwa bazzukulu ba Arooni kabona: Libuna, |
| 14 |
| ne Yattiri, ne Esutemowa, |
| 15 |
| ne Holoni, ne Debiri, |
| 16 |
| ne Ayini, ne Yutta, ne Beti Semesi, wamu n'ettale lyabyo. Ebyo bye bibuga omwenda, ebyaggyibwa ku Bika, ekya Yuda n'ekya Simyoni. |
| 17 |
| Okuva mu kitundu kya Benyamiini, baaweebwa ebibuga bina: Gibiyoni ne Geeba |
| 18 |
| ne Anatooti ne Alumoni n'ettale lyakwo. |
| 19 |
| Ebibuga kkumi na bisatu byonna awamu bye byaweebwa bakabona, bazzukulu ba Arooni. |
| 20 |
| Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Kohati ne baweebwa mu kalulu ebibuga, mu kitundu kya Efurayimu. |
| 21 |
| Baaweebwa ebibuga bina: Sekemu n'ettale lyakwo, ekimu ku bibuga eby'okuddukiramu mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, ne Gezeri |
| 22 |
| ne Kibuzayimu, ne Betooroni n'ettale lyabyo. |
| 23 |
| Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Daani: Eluteke, ne Gibbetooni |
| 24 |
| ne Ayalooni, ne Gaturimmoni n'ettale lyabyo. |
| 25 |
| Ne baweebwa ebibuga bibiri mu kitundu kya Manasse: Taanaki ne Gaturimmoni n'ettale lyabyo. |
| 26 |
| Ebibuga byonna ab'ennyumba ya Kohati abalala bye baafuna byali kkumi, wamu n'ettale lyabyo. |
| 27 |
| Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Gerusooni ne baweebwa mu kitundu kya Manasse ebibuga bibiri: Goloni ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Basani, ne Beesutera, wamu n'ettale lyabyo. |
| 28 |
| Ne baweebwa mu kitundu kya Yissakaari ebibuga bina: Kisiyooni ne Daberaati |
| 29 |
| ne Yarumuti ne Engannimu, wamu n'ettale lyabyo. |
| 30 |
| Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Aseri: Misali ne Abudooni, |
| 31 |
| ne Elukati ne Rehobu, wamu n'ettale lyabyo. |
| 32 |
| Ne baweebwa ebibuga bisatu mu kitundu kya Nafutaali: Kedesi, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Galilaaya, ne Hammoti Doori, ne Karutaani, wamu n'ettale lyabyo. |
| 33 |
| Ab'ennyumba ya Gerusooni bonna awamu, baafuna ebibuga kkumi na bisatu wamu n'ettale lyabyo. |
| 34 |
| Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Merari, ne baweebwa mu kitundu kya Zebbulooni ebibuga bina: Yokuneyaamu ne Karuta, |
| 35 |
| ne Dimuna, ne Nahalali, wamu n'ettale lyabyo. |
| 36 |
| Ne baweebwa mu kitundu kya Rewubeeni ebibuga bina: Bezeri ne Yahazi, |
| 37 |
| ne Kedemooti ne Mefaati, wamu n'ettale lyabyo. |
| 38 |
| Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Gaadi: Ramoti, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Gileyaadi, ne Mahanayimu, |
| 39 |
| ne Hesubooni, ne Yazeri, wamu n'ettale lyabyo. |
| 40 |
| Bwe batyo ab'ennyumba ya Merari bonna awamu, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri. |
| 41 |
| Mu bitundu byonna Abayisirayeli bye baafuna okuba ebyabwe, Abaleevi baaweebwamu ebibuga amakumi ana mu munaana, wamu n'ettale lyabyo eribyetoolodde. |
| 42 |
| Ebibuga ebyo byonna bwe byali bwe bityo nga birina ettale eribyetoolodde. |
| 43 |
| Bw'atyo Mukama bwe yawa Abayisirayeli ensi yonna, gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe. Ne bagyefuga, ne bagibeeramu. |
| 44 |
| Mukama n'abawa emirembe ku nsalo zaabwe zonna, nga bwe yasuubiza bajjajjaabwe. Tewali n'omu ku balabe baabwe bonna eyasobola okuyimirira mu maaso gaabwe, kubanga Mukama yawa Abayisirayeli okuwangula abalabe baabwe bonna. |
| 45 |
| Tewali kirungi na kimu Mukama kye yasuubiza Yisirayeli ekyabulako: byonna byatuukirira. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/joshua/021.mp3
24
21