Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo abakulira ennyumba mu kika ky’Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni n’eri abakulu b’ennyumba z’abaana ba Isirayiri |
| 2 |
| e Siiro mu Kanani ne babagamba nti, “ Mukama Katonda yalagira okuyita mu Musa nti tuweebwe ebibuga eby’okubeeramu era n’amalundiro g’ebisibo byaffe.” |
| 3 |
| Kale, nga Mukama bwe yalagira, Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino n’amalundiro nga gwe mugabo gwabwe. |
| 4 |
| Akalulu ne kagwa ku nda ez’Abakokasi. Bwe batyo Abaleevi abaali bava mu Alooni kabona ne bafuna ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini. |
| 5 |
| Abakokasi abaali basigaddewo ne bafuna ebibuga kkumi okuva mu nnyumba, z’ebika bya Efulayimu, ne Ddaani n’ekitundu ky’ekika kya Manase. |
| 6 |
| N’abaana ba Gerusoni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu nnyumba zino: eya Isakaali, n’eya Aseri, n’eya Nafutaali, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu Basani. |
| 7 |
| Abaana ba Merali ne baweebwa ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga kkumi na bibiri nga biva mu bika bino: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Zebbulooni. |
| 8 |
| Abaana ba Isirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino, n’amalundiro gaabwe nga Mukama bwe yali alagidde okuyita mu Musa. |
| 9 |
| Mu bika bya Yuda ne Simyoni mwavaamu ebibuga bino: |
| 10 |
| bye byaweebwa abaana ba Alooni mu nnyumba z’Abakokasi mu kika ky’Abaleevi kubanga akalulu be kasooka okugwako. |
| 11 |
| Ne babawa Kiriasualuba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki) era ekimanyiddwa nga Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda n’ebyalo byakyo ebikyetoolodde. |
| 12 |
| Naye ennimiro zaakyo n’ebibuga byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune abitwale ng’omugabo gwe. |
| 13 |
| Abantu abaava mu Alooni eyali kabona ne baweebwa Kebbulooni, ebibuga ebyokwekwekamu abo ababa basse bantu bannaabwe, n’amalundiro gaabyo ne Libuna n’amalundiro gaakyo, |
| 14 |
| ne Yattiri n’amalundiro gaakyo ne Esutemoa n’amalundiro gaakyo, |
| 15 |
| ne Kaloni n’amalundiro gaakyo ne Debiri n’amalundiro gaakyo, |
| 16 |
| ne Ayini n’amalundiro gaakyo ne Yuta n’amalundiro gaakyo ebibuga mwenda mu bika ebibiri. |
| 17 |
| Ne mu kika kya Benyamini ne baweebwa Gibyoni, ne Geba |
| 18 |
| ne Anasosi n’amalundiro gaakyo, ne Alumoni n’amalundiro gaakyo ne Alumoni n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina. |
| 19 |
| Ebibuga byonna eby’abaana ba Alooni bakabona byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo. |
| 20 |
| Eri Abakokasi abalala abaali bava mu nnyumba z’Abakokasi ez’Abaleevi ebibuga ebyabaweebwa byava mu kika kya Efulayimu. |
| 21 |
| N’aweebwa Sekemu n’amalundiro gaakyo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ekibuga eky’okwekwekamu oyo asse, ne Gezeri n’amalundiro gaakyo, |
| 22 |
| ne Kizuzaimu n’amalundiro gaakyo ne Besukolooni n’amalundiro gaakyo, |
| 23 |
| ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n’amalundiro gaakyo, Gibbesoni n’amalundiro gaakyo, |
| 24 |
| Ayalooni n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina. |
| 25 |
| Ne mu kitundu eky’ekika kya Manase, Taanaki, n’amalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bibiri. |
| 26 |
| Ebibuga byonna eby’ennyumba z’abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n’amalundiro gaabyo. |
| 27 |
| N’eri abaana ba Gerusoni ekimu ku kika ky’Abaleevi, ekitundu eky’ekika kya Manase, Golani mu Basani n’amalundiro gaakyo, ekibuga eky’okwekwekangamu oyo asse nga tagenderedde, ne Beesutera n’amalundiro gaakyo, ebibuga bibiri. |
| 28 |
| Ne mu kika kya Isakaali, Kisioni n’amalundiro gaakyo, Daberasi n’amalundiro gaakyo, |
| 29 |
| Yalamusi n’amalundiro gaakyo, ne Engannimu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina, |
| 30 |
| ne mu kika kya Aseri, Misali n’amalundiro gaakyo, Abudoni n’amalundiro gaakyo, |
| 31 |
| Kerukasi n’amalundiro gaakyo, ne Lekobu n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina. |
| 32 |
| Ne mu kika kya Nafutaali, Kadesi mu Ggaliraaya n’amalundiro gaakyo, ebibuga ebyokwekwekamu, ne Kammasudoli n’amalundiro gaakyo, ne Kalutani n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bisatu. |
| 33 |
| Ebibuga byonna eby’Abagerusoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo. |
| 34 |
| Abaleevi abaali basigaddewo abaana ba Merali ne baweebwa okuva mu kika kya Zebbulooni, Yokuneamu n’amalundiro gaakyo, ne Kaluta n’amalundiro gaakyo, |
| 35 |
| Dimuna n’amalundiro gaakyo, Nakalali n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bina. |
| 36 |
| Ne mu kika kya Lewubeeni, Bezeri n’amalundiro gaakyo, ne Yakazi n’amalundiro gaakyo, |
| 37 |
| Kedemosi n’amalundiro gaakyo, ne Mefaasi n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina. |
| 38 |
| Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaali n’amalundiro gaakyo, ekibuga ekyokwekwekamu oyo asse, ne Makanayimu n’amalundiro gaakyo. |
| 39 |
| Kesuboni n’amalundiro gaakyo, Yazeri n’amalundiro gaakyo awamu bye bibuga bina. |
| 40 |
| Ebyo byonna byali by’abaana ba Merali be Baleevi, abaali basigalidde ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, bye bibuga kkumi na bibiri byonna awamu. |
| 41 |
| Ebibuga byonna ebyali ku ttaka ery’abaana ba Isirayiri byali amakumi ana mu munaana awamu n’ebyalo byabyo ebibiriraanye. |
| 42 |
| Buli kimu ku bibuga bino kyalina ebyalo ebikyetoolodde; byonna ebibuga bwe byali. |
| 43 |
| Bw’atyo Mukama n’awa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo. |
| 44 |
| Mukama n’abawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe n’omu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe. |
| 45 |
| Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/joshua/021.mp3
24
21