×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Yoswa 21

1
Awo abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n'eri Yoswa omwana wa Nuuni n'eri abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri;
2
ne babagambira mu Siiro mu nsi ya Kanani nti, “Mukama yalagira ng'ayita mu Musa okutuwa ebibuga eby'okubeeramu, n'ebyalo ebiriraanye, (ettale ery'okulundiramu) ente zaffe.”
3
Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi mu busika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira, ebibuga bino n'ettale lyabyo.
4
N'akalulu ne kavaamu enda ez'Abakokasi, n'abaana ba Alooni kabona, abaali ab'ekika ky'Abaleevi, ne baweebwa akalulu mu kika kya Yuda, ne mu kika eky'Abasimyoni, ne mu kika kya Benyamini, ebibuga kkumi na bisatu (13).
5
N'abaana ba Kokasi abalala ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Efulayimu, ne mu kika kya Ddaani, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, ebibuga kkumi (10).
6
N'abaana ba Gerusoni ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Isakaali, ne mu kika kya Aseri, ne mu kika kya Nafutaali, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase mu Basani, ebibuga kkumi na bisatu (13).
7
Abaana ba Merali ne baweebwa ng'enda zaabwe bwe zaali mu kika kya Lewubeeni, ne mu kika kya Gaadi, ne mu kika kya Zebbulooni, ebibuga kkumi na bibiri (12).
8
N'abaana ba Isiraeri ne babawa n'obululu Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyabyo, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
9
Ne babawa mu kika eky'abaana ba Yuda, ne mu kika eky'abaana ba Simyoni, ebibuga bino ebigenda okumenyebwa,
10
ne biba by'abaana ba Alooni, ab'enda ez'Abakokasi, ab'omu baana ba Leevi; kubanga omugabo gwabwe gwe gwasooka.
11
Ne babawa Kiriasualuba, (Aluba oyo yali) kitaawe wa Anaki, (ye Kebbulooni), mu nsi ey'ensozi eya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde.
12
Naye ennimiro z'ekibuga n'ebyalo byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune okuba obusika bwe.
13
Ne bawa abaana ba Alooni kabona, Kebbulooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Libuna n'ebyalo byakyo ebikiriraanye;
14
ne Yattiri n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Esutemoa n'ebyalo byakyo ebikiriraanye;
15
ne Koloni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Debiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
16
ne Aini n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Yuta n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, (ne) Besusemesi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga mwenda (9) mu bika ebyo ebibiri.
17
Ne mu kika kya Benyamini, Gibyoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Geba n'ebyalo byakyo ebikiriraanye;
18
Anasosi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Alumoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4).
19
Ebibuga byonna eby'abaana ba Alooni, bakabona, byali ebibuga kkumi na bisatu (13) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye.
20
N'enda ez'abaana ba Kokasi, Abaleevi, be baana ba Kokasi abalala, ne balya ebibuga eby'akalulu kaabwe mu kika kya Efulayimu.
21
Ne babawa Sekemu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Gezeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
22
ne Kibuzaimu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Besukolooni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4).
23
Ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Gibbesoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye;
24
Ayalooni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4).
25
Ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, Taanaki, n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bibiri (2).
26
Ebibuga byonna eby'enda ez'abaana ba Kokasi abalala byali kkumi (10) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye.
27
(Ne bawa) abaana ba Gerusoni, ab'enda ez'Abaleevi, mu kitundu eky'ekika kya Manase Golani mu Basani n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi; ne Beesutera n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bibiri (2).
28
Ne mu kika kya Isakaali, Kisioni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Daberasi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye;
29
Yalamusi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Engannimu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4).
30
Ne mu kika kya Aseri, Misali n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Abudoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
31
Kerukasi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ne Lekobu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4).
32
Ne mu kika kya Nafutaali, Kedesi mu Ggaliraaya n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Kammasudoli n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Kalutani, n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bisatu (3).
33
Ebibuga byonna eby'Abagerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali byali ebibuga kkumi na bisatu (13) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye.
34
(Ne bawa) enda ez'abaana ba Merali, (be) Baleevi abalala, mu kika kya Zebbulooni, Yokuneamu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Kaluta n'ebyalo byakyo ebikiriraanye,
35
Dimuna n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Nakalali n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4).
36
Ne mu kika kya Lewubeeni, Bezeri n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Yakazi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye,
37
Kedemosi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Mefaasi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4).
38
Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaadi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Makanayimu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye;
39
Kesuboni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Yazeri n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; byonna ebibuga bina (4).
40
Ebyo byonna byali bibuga by'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali, ze nda endala ez'Abaleevi; n'akalulu kaabwe kaali ebibuga kkumi na bibiri (12).
41
Ebibuga byonna eby'Abaleevi (ebyali) wakati mu butaka obw'abaana ba Isiraeri byali ebibuga ana mu munaana (48) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye.
42
Ebibuga ebyo byonna byalina ebyalo byabyo ebibyetoolodde; era bwe byali bwe bityo ebibuga ebyo byonna.
43
Mukama bwe yawa bw'atyo Abaisiraeri ensi yonna gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe; ne bagirya, ne bagibeeramu.
44
Mukama n'abawummuza enjuyi zonna, nga byonna bye yalayirira bajjajjaabwe; so tewali muntu mu balabe baabwe bonna eyayimirira mu maaso gaabwe; Mukama yawaayo abalabe baabwe bonna mu mukono gwabwe.
45
Tewali kigambo ekitaatuuka mu birungi byonna Mukama bye yagamba ennyumba ya Isiraeri; byonna byatuuka.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes