Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne beeraga mu maaso ga Katonda.
Yoswa n'agamba abantu bonna nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Bajjajjammwe baabeera mu biro eby'edda emitala w'Omugga, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli: ne baweereza bakatonda abalala.
Ne mpa Isaaka Yakobo ne Esawu: ne mpa Esawu olusozi Seyiri, okululya; Yakobo n’abaana be ne baserengeta mu Misiri. Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati waayo, oluvannyuma ne mbaggyamu.
Ne bajjajjammwe ne mbaggya mu Misiri: ne mutuuka ku nnyanja; n'Abamisiri ne bagoberera bajjajjammwe n'amagaali n'abeebagadde embalaasi ku Nnyanja Emmyufu.
Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani; ne balwana nammwe: ne mbawa mu mukono gwammwe, n'ensi yaabwe ne mugirya; ne mbazikiriza mu maaso gammwe:
Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko: n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbawa mu mukono gwammwe.
Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa: era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'Omugga, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama.
Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannannyini nsi mwe muli: naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.
kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati:
N'amagumba ga Yusufu, abaana ba Isiraeri ge baggya mu Misiri ne bajja nago, ne bagaziika mu Sekemu, mu kitundu eky'ensi Yakobo kye yagula eri batabani ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ebitundu ebya ffeeza kikumi: ne gaba obusika obw'abaana ba Yusufu.