ne balagira abantu, nga boogera nti Bwe munaalaba essanduuko ey'endagaano ya Mukama Katonda wammwe; ne bakabona Abaleevi nga bagyetisse, ne mulyoka muva mu kifo kyammwe, ne mugigoberera.
Mukama n'agamba Yoswa nti Leero naatanula okukugulumiza mu maaso ga Baisiraeri bonna, bamanye nti, nga bwe nnali ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe.
Era onoolagira bakabona abasitula essanduuko ey'endagaano, ng'oyogera nti Bwe munaatuuka ku mabbali g'amazzi aga Yoludaani, munaayimirira mu Yoludaani.
Yoswa n'ayogera nti Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n'Abakiiti, n'Abakiivi, n'Abaperizi, n'Abagirugaasi, n'Abamoli, n'Abayebusi.
Owo, ebigere bya bakabona abasitula essanduuko ya Mukama, Mukama w'ensi zonna bwe biribeera mu mazzi ga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gaggwaawo, ge mazzi agava engulu; ne gayimirira entuumu wamu.
era abaasitula essanduuko bwe baatuuka ku Yoludaani, ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ne byennyika ku mabbali g'amazzi (kubanga Yoludaani gwanjaala ku ttale lyagwo lyonna mu biro byonna eby'amakungula,)
amazzi agaava engulu ne galyoka gayimirira ne geekuma entuumu wamu, wala nnyo, ku Adamu, ekibuga ekiriraanye e Zalesani: n'ago agakka ku nnyanja eye Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ne gaggweerawo ddala: abantu ne basomokera awaliraanye e Yeriko.
Bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama ne bayimirira ne banywera ku lukalu wakati mu Yoludaani, n'Abaisiraeri bonna ne bayita awakalu, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyayitira ddala mu Yoludaani.