ne balagira abantu, nga boogera nti, “Bwe munaalaba essanduuko ey'endagaano ya Mukama Katonda wammwe, ne bakabona Abaleevi nga bagyetisse, ne mulyoka muva mu kifo kyammwe, ne mugigoberera.
Era onoolagira bakabona abasitula essanduuko ey'endagaano, ng'oyogera nti, ‘Bwe munaatuuka ku mabbali g'amazzi aga Yoludaani, munaayimirira mu mazzi ago.’ ”
Yoswa n'ayogera nti, “Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n'Abakiiti, n'Abakiivi, n'Abaperizi, n'Abagirugaasi, n'Abamoli, n'Abayebusi.
era abaasitula essanduuko bwe baatuuka ku Yoludaani, ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ne byennyika ku mabbali g'amazzi (kubanga Yoludaani gwanjaala ku ttale lyagwo lyonna mu biro byonna eby'amakungula),
amazzi agaava engulu ne galyoka gayimirira ne getuuma entuumu wamu, wala nnyo, ku Adamu, ekibuga ekiriraanye e Zalesani; n'ago agakka ku nnyanja ey'e Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ne gaggweerawo ddala, abantu ne basomokera awaliraanye e Yeriko.
Bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama ne bayimirira ne banywera ku lukalu wakati mu Yoludaani, n'Abaisiraeri bonna ne bayita awakalu, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyayitira ddala mu Yoludaani.