Awo bakabaka bonna ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba; ne bakabona ab'Abakanani, abaali ku nnyanja, bwe baawulira Mukama bwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okutuuka bwe twamala okusomoka, omutima gwabwe ne gusaanuuka, so nga tewakyali alina omwoyo mu bo; olw'abaana ba Isiraeri.
Okuyitako ng'eweddeko ku lunaku olw'enkya ne balya emmere enkalu ey'omwaka ogwaggwaako, emigaati egitazimbulukuswa ne kasooli omusiike, ku lunaku olwo.
Awo, Yoswa bwe yali ng'asembedde e Yeriko, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, nga wayimiridde omuntu okumwolekera eyalina ekitala ekisowole mu mukono gwe; Yoswa n'amusemberera, n'amugamba nti Oli ku lwaffe, oba oli ku lwa balabe baffe?