Ne bakabona omusanvu balisitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bazikulembeza essanduuko: ne ku lunaku olw'omusanvu mulikyetooloola ekibuga emirundi musanvu; ne bakabona balifuuwa eŋŋombe.
Ne bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bazikulembeza essanduuko ya Mukama ne bagenda obutalinda, ne bafuuwa eŋŋombe: n'abalina eby'okulwanyisa nga babakulembedde: n'ab'ennyuma ne bagoberera essanduuko ya Mukama nga bafuuwa eŋŋombe nga batambula.
Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bakeera enkya mu matulutulu, ne beetooloola ekibuga emirundi musanvu bwe batyo: naye ku lunaku olwo beetooloola ekibuga emirundi musanvu.
N'ekibuga kiriterekerwa Mukama, ekibuga ne byonna ebirimu: Lakabu omwenzi y'aliwona yekka, ye ne bonna abali awamu naye mu nnyumba, kubanga yakweka abatume, be twatuma.
Abavubuka abakessi ne bayingira, ne bamufulumya Lakabu, ne kitaawe, ne nnyina; ne baganda be, ne byonna by'alina, era n'ekika kye kyonna ne babafulumya; ne babateeka ebweru ku lusiisira lwa Isiraeri:
Naye Lakabu omwenzi, n'ab'ennyumba ya kitaawe ne byonna bye yalina, Yoswa n'abawonya; n'abeera wakati mu Isiraeri, ne kaakano; kubanga yakweka abatume, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko.
Yoswa n'abalayiza ekirayiro mu biro ebyo, ng'ayogera nti Akolimirwe mu maaso ga Mukama oyo aliyimirira n'azimba ekibuga kino Yeriko: mu kufiirwa omwana we omubereberye mw'alissizaawo emisingi gyakyo, era mu kufiirwa omwana we omuto alisimba enzigi zaakyo.