Naye abaana ba Isiraeri ne boonoona mu biterekeddwa: kubanga Akani, omwana wa Kalumi, omwana wa Zabudi, omwana wa Zeera, ow'ekika kya Yuda, n'atwala ku biterekeddwa: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku baana ba Isiraeri.
Yoswa n'atuma abantu okuva mu Yeriko okugenda e Ayi ekiriraanye Besaveni, ku luuyi olw'ebuvanjuba olwa Beseri, n'abagamba nti Mulinnye mukette ensi. Abantu ne balinnya ne baketta Ayi.
N'ab'e Ayi ne bakuba mu bo abantu ng'amakumi asatu mu mukaaga: ne babagoba okubaggya ku wankaaki okubatuusa ku Sebalimu, ne babakubira awaserengeterwa: emitima gy'abantu ne gisaanuuka, ne giba ng'amazzi.
Yoswa n'ayuza engoye ze, n'agwa ne yeevuunika awali essanduuko ya Mukama n'atuusa olweggulo, ye n’abakadde ba Isiraeri; ne beesiiga enfuufu ku mitwe gyabwe:
Abaisiraeri boonoonye; era bamenye endagaano yange gye nnabalagira; era n'okutwala batutte ku biterekeddwa; era babbye, era bakuusizza, era babiyingizizza mu bintu byabwe.
Mukale, mutukuze abantu, mwogere nti Mwetukulize olunaku olw'enkya: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Waliwo ekiterekeddwa wakati mu ggwe; Isiraeri: toyinza kuyimirira mu maaso g'abalabe bo; nga temunnakiggyawo ekiterekeddwa mu mmwe.
Ne Yoswa n'Abaisiraeri bonna awamu naye ne batwala Akani, omwana wa Zeera, n'effeeza, n'ekyambalo, n'olulimu olwa zaabu; n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente ze, n'endogoyi ze; n'endiga ze, n'eweema ye ne byonna bye yalina: ne babalinnyisa mu kiwonvu Akoli:
Yoswa n'ayogera nti Kiki ekyakutweraliikirizisa? Mukama anaakweraliikiriza ggwe leero, Abaisiraeri bonna ne bamukuba amayinja; ne babookya omuliro, ne babakuba amayinja.