Abayisirayiri ne basobya bwe baatwala ku bintu ebyali ebiwonge; Akani mutabani wa Kaluni muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda, ne yeetwalira ebimu ku bintu ebyo: bw’atyo Mukama n’asunguwalira nnyo eggwanga lya Isirayiri.
Yoswa n’asindika abasajja okuva e Yeriko bagende mu kitundu kye Ayi okuliraana Besaveni ebuvanjuba wa Beseri, n’abakuutira nti, “Mugende mukette ensi eyo.” Nabo ne bagenda ne baketta Ayi.
Ne bakomawo ne bategeeza Yoswa nti, “Tosindika bantu bangi kulumba Ayi wabula weerezaayo abantu nga enkumi bbiri oba ssatu be baba balumba. Toweerezaayo bantu bonna kubanga ab’omu Ayi si bangi.”
okubaggya ku wankaaki w’ekibuga okubatuusiza ddala emitala wa Sebalimu era Abayisirayiri ng’amakumi asatu mu mukaaga ne battibwa. Entiisa ne buutikira Abayisirayiri; emitima ne gibayenjebuka.
Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso g’Essanduuko ya Mukama okuzibya obudde.
Ka mbabuulire, okuggyako nga muzikiriza omubi ali mu mmwe, Abayisirayiri tebayinza kwolekera balabe baabwe, babadduka buddusi, kubanga nsazeewo bazikirizibwe.
“ ‘Enkya mujjire mu bika byammwe, buli kika Mukama ky’anaalondamu kinaasembera luggya ku luggya, n’oluggya Mukama lw’anaalondamu lunajja nju ku nju, era enju Mukama gy’anaalondamu enejja muntu ku muntu.
Bwe nalaba nga mu munyago mulimu ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaali n’ensimbi, n’effeeza ne zaabu ne mbyegomba, bwe ntyo ne mbitwala ne mbisimira mu ttaka mu weema yange.”
Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakwata Akani muzzukulu wa Zeera ne bye yanyaga: effeeza, ne zaabu, n’ekyambalo. Ne bamutwala ne batabani be, ne bawala be, n’ente ze n’endogoyi ze, n’endiga ze, n’eweema ye ne byonna bye yalina ne babiserengesa mu kiwonvu Akoli.