Awo, bakabaka bonna abaali emitala wa Yoludaani, mu nsi ey'ensozi, ne mu nsenyi, ne ku ttale lyonna ery'ennyanja ennene Lebanooni gye lusimba, Abakiiti, n'Abamoli, n'Abakanani, n'Abaperizi n'Abakiivi, Abayebusi, bwe baakiwulira;
ne basala amagezi, ne bagenda ne beefuula ng'ababaka, ne batwala ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'amaliba ag'omwenge amakadde agaayulika agaatungirirwa;
Ne bamugamba nti Abaddu bo bavudde mu nsi wala nnyo okujja wano olw'erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga twawulira okwatiikirira kwe, ne byonna bye yakola mu Misiri,
N'abakadde baffe ne bonna abaali mu nsi yaffe ne batugamba nti Mutwalire olugendo olwo entanda mu mikono gyammwe mugende mubasisinkane, mubagambe nti Tuli baddu bammwe: kale kaakano mulagaane naffe.
Abaana ba Isiraeri ne batambula ne batuuka mu bibuga byabwe ku lunaku olw'okusatu: Ebibuga byabwe byali Gibyoni, ne Kefira, ne Beerosi, ne Kiriyasuyalimu.
Ne bamuddamu Yoswa ne boogera nti Kubanga abaddu bo baategeezebwa ddala nga Mukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa ensi yonna, n'okuzikiriza bonna abali mu nsi mu maaso gammwe; kyetwava tutya ennyo olw'obulamu bwaffe ku lwammwe, ne tukola bwe tutyo.