|
| 1 |
|
| Kale mulekenga ettima lyonna, n'obulimba bwonna, n'obukuusa, n'obuggya, n'okwogera obubi kwonna. |
|
| 2 |
|
| Ng'abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata amalungi agagasa omwoyo, mulyoke muganywe mukule era mulokolebwe. |
|
| 3 |
|
| Ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, “Mwalega ku bulungi bwa Mukama.” |
|
| 4 |
|
| Mujje gy'ali. Ye lye jjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery'omugaso ennyo. |
|
| 5 |
|
| Mujje gy'ali ng'amayinja amalamu, muzimbe ennyumba ey'omwoyo. Mu yo, mube bakabona abatukuvu, abaweereza ebitambiro eby'omwoyo, ebisiimibwa Katonda mu Yesu Kristo. |
|
| 6 |
|
| Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Nalonda ejjinja ery'omuwendo, kati lye nteeka mu Siyooni, libe ekkulu ery'entabiro. Era amukkiriza taliswazibwa” |
|
| 7 |
|
| Ejjinja lino lya muwendo nnyo eri mmwe abakkiriza, naye eri abo abatakkiriza: “Lye jjinja abazimbi lye baagaana, eryafuuka ekkulu ery'entabiro.” |
|
| 8 |
|
| Era nti: “Lye jjinja abantu kwe beekoona; lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala, kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda. Bwe batyo bwe baateekerwateekerwa. |
|
| 9 |
|
| Naye mmwe muli lulyo lulondobe, bakabona ba Kabaka, ggwanga ttukuvu, bantu ba Katonda bennyini, abaalondebwamu mulyoke mulangirire ebirungi bya Katonda eyabayita okuva mu kizikiza, okuyingira mu kitangaala kye ekyewuunyizibwa. 2:14; Yis 9:2 |
|
| 10 |
|
| Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda. Edda mwali temusaasirwa Katonda, kyokka kaakano abasaasidde. |
|
| 11 |
|
| Abaagalwa, muli bagenyi abayita obuyisi mu nsi muno. Mbeegayirira mwewale ebyo omubiri bye gwegomba, ebirwanyisa omwoyo. |
|
| 12 |
|
| Mukuumenga empisa zammwe ennungi, olwo abantu ab'ensi be mulimu, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, bagulumize Katonda ku lunaku lw'alijjirako. |
|
| 13 |
|
| Ku bwa Mukama, muwulire buli kiragiro eky'abo abalina obuyinza, oba kabaka alina obuyinza obw'oku ntikko, |
|
| 14 |
|
| oba abafuzi abalala b'atuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era n'okusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi. |
|
| 15 |
|
| Katonda ayagala mukole ebikolwa ebirungi, musirise abantu abasiru era abatalina kye bamanyi. |
|
| 16 |
|
| Mube ba ddembe, naye eddembe eryo muleme kulyesigamako okuyisa obubi, wabula mulikozese ng'abaweereza ba Katonda. |
|
| 17 |
|
| Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu abafuzi ekitiibwa. |
|
| 18 |
|
| Abakozi muwulirenga bakama bammwe, mubassengamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi era abakwatampola, naye n'abo abakambwe. |
|
| 19 |
|
| Kya mukisa omuntu bw'abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n'agumiikiriza ng'alowooza ku Katonda. |
|
| 20 |
|
| Ttendo ki lye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonerezebwa olw'okukola ebibi? Naye bwe mugumiikiriza mu kubonyaabonyezebwa olw'okukola ebirungi, ekyo Katonda akisiima. |
|
| 21 |
|
| Ekyo kye mwayitirwa, kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mumugoberere. |
|
| 22 |
|
| Ye takolanga kibi, tayogeranga bya bukuusa. |
|
| 23 |
|
| Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda asala omusango nga tasaliriza. |
|
| 24 |
|
| Ye yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe ku musaalaba, tulyoke tufe eri ekibi, tube balamu mu butuukirivu. Ebiwundu bye, bye byabawonya. |
|
| 25 |
|
| Mwali muwabye ng'endiga, naye kaakano mukomyewo eri omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe. |
|
|
|
|