BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Nkubiriza abakadde abali mu mmwe, nze nga mukadde munnammwe omujulirwa w'ebibonoobono bya Kristu, era aligabana ku kitiibwa ekijja okwolekebwa, |
| 2 |
| mulabirirenga eggana lya Katonda eryabakwasibwa, si na buwaze, wabula lwa kwagala nga Katonda yennyini bwe yandikoze. Temugobererangamu magoba agaswaza, wabula mukoze kwagala, |
| 3 |
| buli omu ku baamukwasibwa n'atalaga buyinza; wabula mubeere kyakulabirako eri eggana. |
| 4 |
| Omusumba Omukulu bw'alirabika, mufune engule ey'ekitiibwa etafuma. |
| 5 |
| Nammwe abavubuka, muwulirenga abakadde. Mwambale buli omu okwetoowaliza munne, anti Katonda alwanyisa abeekuza, naye abeetoowaze abagirira ekisa. |
| 6 |
| Mwetoowalize omukono gwa Katonda ogw'amaanyi, mu bbanga ttono alyoke abagulumize. |
| 7 |
| Byonna ebibeeraliikiriza mubimukasukire, kubanga abafaako. |
| 8 |
| Mubeere bakalangufu, mutunule, kubanga Sitaani omulabe wammwe ayitaayita ng'empologoma ewuluguma ng'enoonya gw'eneekavvula. |
| 9 |
| Mumuziyize nga muli banywevu mu kukkiriza. Mutegeere ng'ennaku ezibalaba z'eziraba n'abooluganda lwammwe bonna abali ku nsi. |
| 10 |
| Nga mumaze okubonaabonamu akabanga, Katonda nnyini kisa kyonna, eyatuyita okugabana ku kitiibwa ekitaggwaawo mu Yezu Kristu, ye ajja kubazzaawo, abanyweze, abagumye. |
| 11 |
| Oyo obukulu bubeere bubwe emirembe n'emirembe. Amiina. |
| 12 |
| Neeyambye Siluvano owooluganda omwesigwa okubawandiikira mu bimpimpi nga mbeegayirira, n'okukakasa nga bwe nkakasa, nti bino y'eneema ya Katonda. Muginywereremu. |
| 13 |
| Oyo ali mu Babiloni, eyalondebwa nga mmwe, abatumidde; era ne mutabani wange Mariko. |
| 14 |
| Mulamusaganye n'okunywegera okw'okwagala. Emirembe gibeere nammwe mwenna abali mu Kristu. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/1peter/005.mp3
5
5