Luganda Bible
|
| 1 |
| Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa ey'okubiri gye mbawandiikira; mu ezo zombi mbakubiriza amagezi gammwe agataliimu bukuusa nga mbajjukiza; |
| 2 |
| okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n'ekiragiro ky'abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi: |
| 3 |
| nga mumaze okusooka okutegeera kino, nga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo |
| 4 |
| ne boogera nti Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa. |
| 5 |
| Kubanga beerabira kino nga balaba, ng'edda waaliwo eggulu, n'ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi, olw'ekigambo kya Katonda, |
| 6 |
| ensi ey'edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n'ezikirira: |
| 7 |
| naye eggulu erya kaakano n'ensi olw'ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda. |
| 8 |
| Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi giri ng'olunaku olumu. |
| 9 |
| Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya. |
| 10 |
| Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n'okuwuuma okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwokebwa okungi, n'ensi n'ebikolwa ebigirimu birisirikka. |
| 11 |
| Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda, |
| 12 |
| nga musuubira nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n'ebintu eby'obuwangwa ne biseebengerera olw'ebbugumu eringi? |
| 13 |
| Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n'ensi empya, obutuukirivu mwe butuula. |
| 14 |
| Kale, abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge. |
| 15 |
| Era mulowoozenga ng'okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira; |
| 16 |
| era nga mu bbaluwa ze zonna, ng'ayogera ku ebyo mu zo; omuli ebimu ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga n'ebyawandiikibwa ebirala, olw'okuzikirira kwabwe bo. |
| 17 |
| Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumanga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi. |
| 18 |
| Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano era n'okutuusa ku lunaku olw'emirembe n'emirembe. Amiina. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/2peter/003.mp3
3
3