Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa yange eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza okuba n'endowooza eteriimu bukuusa, |
| 2 |
| mulyoke mujjukire ebigambo ebyayogerwa edda abalanzi abatukuvu, n'ebiragiro bya Mukama era Omulokozi, ebyabaweebwa abatume bammwe. |
| 3 |
| Okusookera ddala, mumanye kino nti mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abantu abagoberera okwegomba kwabwe okubi. Abantu abo balibasekerera mmwe, |
| 4 |
| nga bagamba nti: “Eyasuubiza nti alijja aluwa? Kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna bikyali nga bwe byali okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi!” |
| 5 |
| Kino bakyeyisaako bweyisa. Bamanyi nti edda Katonda yayogera bwogezi, eggulu n'ensi ne bitondebwa, ensi n'ekolebwa ng'eggyibwa mu mazzi, era n'eteekebwa wakati waago. |
| 6 |
| Amazzi ago era ge gaasaanyaawo ensi ey'edda, n'ezikirira. |
| 7 |
| Ekigambo kya Katonda ekyo kyennyini, kye kibeesaawo eggulu n'ensi ebiriwo kaakano, ne kibikuuma okutuusa lwe biryokebwa omuliro ku lunaku olw'okusalirako omusango, n'okuzikirira kw'abantu abatassaamu Katonda kitiibwa. |
| 8 |
| Abaagalwa, kino temukyerabiranga nti eri Mukama, olunaku olumu kye kimu n'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi kye kimu n'olunaku olumu. |
| 9 |
| Mukama talwawo kutuukiriza kye yasuubiza ng'abamu bwe balowooza, kyokka abagumiikiriza mmwe, nga tayagala wabeewo azikirira, wabula bonna beenenye. |
| 10 |
| Naye Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lulijja ng'omubbi. Ku olwo eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n'ebiririko birisaanuusibwa omuliro, era ensi n'ebigikolerwako birisirikka. |
| 11 |
| Oba ng'ebintu ebyo byonna bigenda kuzikirizibwa bwe bityo, mugwanidde kubeera mutya? Mu bulamu bwammwe mugwanidde kuba batukuvu era abassaamu Katonda ekitiibwa, |
| 12 |
| nga mulindirira era nga mwegomba nnyo Olunaku Katonda lw'alisalirako omusango lutuuke. Ku lunaku olwo, eggulu lirikoleera omuliro ne liggya, n'ebiririko birisaanuusibwa omuliro. |
| 13 |
| Kyokka nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira eggulu eriggya n'ensi empya, omuli obutuukirivu. |
| 14 |
| Kale abaagalwa, nga bwe mulindirira ebyo, mufube, Mukama abasange nga muli mirembe mu maaso ge, nga temuliiko bbala wadde akamogo. |
| 15 |
| Mumanye nti okugumiikiriza kwa Mukama waffe, gwe mukisa gwammwe ogw'okulokolebwa. Ne muganda waffe omwagalwa Pawulo bw'atyo bwe yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa. |
| 16 |
| Ebyo abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mu zo mulimu ebimu ebizibu okutegeera, abantu abatamanyi n'abatali banywevu, bye bakyamya, nga bwe bakola ne ku byawandiikibwa ebirala, ne kibaviiramu okuzikirira. |
| 17 |
| Kale nno mmwe abaagalwa, nga ebyo bwe mubitegedde nga bukyali, mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa bukyamu bw'ababi, ne muva we munyweredde. |
| 18 |
| Naye mukule nga muyambibwa Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, nga mweyongera okumumanya. Yennyini aweebwenga ekitiibwa, kaakano n'emirembe gyonna. Amiina. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/2peter/003.mp3
3
3