Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Abaagalwa, eno y’ebbaluwa eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza mutegeerere ddala ebyo ebituufu era ebisaana. |
| 2 |
| Mujjukire ebyo ebyayogerwa bannabbi abatukuvu n’ekiragiro kya Mukama waffe era Omulokozi waffe ekyaweebwa abatume bammwe. |
| 3 |
| Ekisooka, mutegeerere ddala nga mu nnaku ez’oluvannyuma abantu abagoberera okwegomba kw’omubiri gwabwe balijja mu mmwe nga babasekerera, |
| 4 |
| nga bwe bagamba nti, “Eyasuubiza nti alijja, aluwa? Kubanga kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri nga bwe byabanga okuva ensi lwe yatondebwa!” |
| 5 |
| Beefuula abatamanyi nti edda Katonda yalagira bulagizi, era olw’ekigambo eggulu n’ensi ne bitondebwa. Olw’ekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ng’eggyibwa mu mazzi era n’ebeera wakati w’amazzi. |
| 6 |
| Era olw’ekigambo ekyo ensi eyo ey’edda, amazzi gaagisaanyaawo n’ezikirira. |
| 7 |
| Era olw’ekigambo ekyo, eggulu n’ensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olw’okusalirako omusango, n’okuzikirizibwa kw’abo abatatya Katonda. |
| 8 |
| Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu, era n’olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi. |
| 9 |
| Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye. |
| 10 |
| Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja nga tewali n’omu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n’ebiririko birizikirizibwa n’omuliro, era ensi n’ebintu ebigirimu birisirikka. |
| 11 |
| Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda, |
| 12 |
| nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna bwe buryokebwa ne buzikirizirwa n’ebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka. |
| 13 |
| Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya n’ensi empya omuli obutuukirivu. |
| 14 |
| Kale, abaagalwa, nga bwe mulindirira ebintu ebyo okubaawo mufubenga nnyo okuba abalongoofu abataliiko kya kunenyezebwa nga mulina emirembe. |
| 15 |
| Kyokka mulowoozenga ku kubonyaabonyezebwa okw’obulokozi bwa Mukama waffe, nga ne muganda waffe omwagalwa Pawulo kye yabategeeza mu bbaluwa ze yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa. |
| 16 |
| Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lw’awandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira. |
| 17 |
| Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde. |
| 18 |
| Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/2peter/003.mp3
3
3