×



2 Yokaana 1

1
Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde n'abaana be nze be njagala mu mazima; so si nze nzekka, era naye ne bonna abategeera amazima;
2
olw'amazima agabeera mu ffe, era aganaabeeranga naffe emirembe n'emirembe:
3
ekisa, okusaasira, emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n'eri Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe, binaabeeranga naffe mu mazima n'okwagala.
4
Nsanyuse nnyo kubanga nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima, nga bwe twaweebwa Kitaffe ekiragiro.
5
Era kaakano nkwegayirira, omukyala, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya wabula kye twalina okuva ku lubereberye, twagalanenga fekka na fekka.
6
Na kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye. Ekyo kye kiragiro, nga bwe mwawulira okuva ku lubereberye mulyoke mukitambulirengamu.
7
Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng'ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo.
8
Mwekuumenga muleme okubulwa emirimu gye twakola, naye muweebwe empeera ennamba.
9
Buli muntu ayitirira n'atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda: abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n'Omwana.
10
Omuntu yenna bw'ajjanga gye muli n'ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga:
11
kubanga amulamusa assa ekimu naye mu bikolwa bye ebibi.
12
Newakubadde nga nnina ebigambo bingi okubawandiikira, ssaagala kubiwandiika ku lupapula ne bwino: naye nsuubira okujja gye muli, n'okwogera akamwa n'akamwa, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
13
Abaana ba muganda wo omulonde bakulamusizza.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes