|
| 1 |
| Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde n'abaana be nze be njagala mu mazima; so si nze nzekka, era naye ne bonna abamanyi amazima; |
| 2 |
| olw'amazima agabeera mu ffe, era aganaabeeranga naffe emirembe n'emirembe. |
| 3 |
| Ekisa, okusaasira, n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n'eri Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe, binaabeeranga naffe mu mazima n'okwagala. |
| 4 |
| Nsanyuse nnyo kubanga nnaasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima, nga bwe twalagirwa Kitaffe. |
| 5 |
| Era kaakano nkwegayirira, omukyala, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya wabula kye twalina okuva ku lubereberye, twagalanenga fekka na fekka. |
| 6 |
| Na kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye. Ekyo kye kiragiro, nga bwe mwawulira okuva ku lubereberye mulyoke mukitambulirengamu. |
| 7 |
| Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng'ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo. |
| 8 |
| Mwekuumenga muleme okubulwa emirimu gye twakola, naye muweebwe empeera ennamba. |
| 9 |
| Buli muntu ayitirira n'atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda, abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n'Omwana. |
| 10 |
| Omuntu yenna bw'ajjanga gye muli n'ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga, |
| 11 |
| kubanga amulamusa assa ekimu naye mu bikolwa bye ebibi. |
| 12 |
| Newakubadde nga nnina ebigambo bingi okubawandiikira, ssaagala kubiwandiika ku lupapula ne bwino, naye nsuubira okujja gye muli, n'okwogera nammwe akamwa n'akamwa, essanyu lyammwe liryoke lituukirire. |
| 13 |
| Abaana ba muganda wo omulonde bakulamusizza. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/2john/001.mp3
1
1