|
| 1 |
| Nze Omukadde mpandiikira Gaayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima. |
| 2 |
| Omwagalwa, nsaba Katonda obeere bulungi mu byonna, era obeere mulamu mu mubiri, nga bw'oli mu mwoyo. |
| 3 |
| Nasanyuka nnyo abooluganda bwe bajja ne boogera nti onyweredde ku mazima, era nti g'otambuliramu. |
| 4 |
| Tewali kinsanyusa ng'okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima. |
| 5 |
| Omwagalwa, oli mwesigwa mu byonna by'okolera abooluganda, ne bwe baba nga bagenyi bugenyi. |
| 6 |
| Abo baategeeza ekibiina ky'abakkiriza Kristo ku kwagala kwo. Onooba okoze bulungi okubakulembera ne batambula nga basaanidde Katonda, |
| 7 |
| kubanga beesowolayo olwa Kristo, ne bagaana okuweebwa ekintu n'ekimu okuva mu batakkiriza. |
| 8 |
| N'olwekyo tusaanidde okuyamba abantu ng'abo, tulyoke twetabe mu mulimu ogw'okubunyisa amazima. |
| 9 |
| Nawandiikira ekibiina ky'abakkiriza Kristo, naye Diyotireefe olw'okululunkanira okuba omukulu waabwe, takkiriza bye ŋŋamba. |
| 10 |
| Bwe ndijja kyendiva mmuvunaana olw'ebikolwa bye by'akola, ng'atwogerako ebigambo ebibi. Era ebyo tebimumala, wabula abooluganda ye yennyini tabaaniriza; ate n'abo abaagala okubaaniriza abaziyiza, n'abagoba ne mu kibiina ky'abakkiriza Kristo. |
| 11 |
| Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula gobereranga ekirungi. Akola ekirungi, oyo aba wa Katonda. Akola ekibi, oyo aba talabanga Katonda. |
| 12 |
| Demetiriyo bonna bamwogerako bulungi, era kye boogera kya mazima. Era naffe tumwogerako bulungi, ate omanyi nga ffe kye twogera kiba kya mazima. |
| 13 |
| Mbadde na bingi eby'okukuwandiikira, naye ssaagala kukuwandiikira na kafumu na bwino. |
| 14 |
| Nsuubira okukulaba amangu, olwo tulyogeranya akamwa n'akamwa. |
| 15 |
| Emirembe gibe naawe. Mikwano gyo bakulamusizza. Lamusa buli omu ku mikwano gyaffe. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/3john/001.mp3
1
1