Waliwo abantu abajja mu bubba, abaawandiikwako edda nga baasalirwa omusango, abatatya Katonda abajerega ekisa kya Katonda waffe, ne bakiyisaamu amaaso, ne beegaana Yesu Kristo Mukama waffe, omu yekka.
ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira n’ebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere n’abassa mu kkomera ery’ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango.
Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!”
Abantu bano bwe bajja ne babeegattamu nga muli ku mbaga zammwe ez’okumanyagana, baba ng’amabala amabi, nga tebatya, nga beefaako bokka, nga bali ng’ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; oba ng’emiti egiwaatudde, egitaliiko bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuulibwa n’emirandira;
oba ng’amayengo ag’oku nnyanja agasiikuuse, ebikolwa byabwe ne bibaswaza; oba ng’emmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo eky’olubeerera.
Beemulugunya, era bakola buli kye beegomba, era nga boogerera waggulu ebigambo eby’okweraga; era olaba bassizzaamu omuntu ekitiibwa ng’omanya nti balina kye bamwagalako.
Naye mmwe, abaagalwa, musaana okuzimba obulamu bwammwe nga bweyongera okuba obw’amaanyi, nga mubuzimbira ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu, era nga musaba mu Mwoyo Mutukuvu,
Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olw’amaanyi ge n’obuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.