Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebiteekwa okubaawo amangu, ate ye n'abiyisa mu malayika we gwe yatuma eri omuweereza we Yokaana,
Yokaana eri ekkanisa omusanvu ez'omu Asiya: Ekisa kibeerenga nammwe n'emirembe ebiva eri oyo abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo; era ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g'entebe ye,
era ebiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omubereberye w'abafu, era afuga bakabaka b'omu nsi. Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw'omusaayi gwe;
Nze Yokaana, muganda wammwe, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw'ekigambo kya Katonda era n'olw'okujulira ebya Yesu.
Yali ng'akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu, ne mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, n'obwenyi bwe nga buli ng'enjuba bw'eyaka mu maanyi gaayo.