×

Luganda Bible 2003

Okubikkulirwa 10

1
Awo ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi, nga ava mu ggulu, ng'akka. Yali ayambadde ekire, ku mutwe gwe nga kuliko musoke; amaaso ge nga gali ng'enjuba, n'ebigere bye, nga biri ng'empagi ez'omuliro.
2
Yalina mu ngalo ze omuzingo gw'akatabo, nga mubikkule. Ekigere kye ekya ddyo n'akiteeka ku nnyanja, ekya kkono n'akiteeka ku lukalu.
3
N'aleekaana n'eddoboozi ery'omwanguka ng'ery'empologoma ewuluguma. Bwe yaleekaana, eggulu ne libwatuka emirundi musanvu.
4
Eggulu bwe lyabwatuka emirundi omusanvu, nali ŋŋenda okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Ebyo eggulu eribwatuse emirundi omusanvu bye lyogedde, bikuume nga bya kyama, era tobiwandiika.”
5
Awo malayika gwe nalaba ng'ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu, n'agolola waggulu omukono gwe ogwa ddyo,
6
n'alayira Katonda Nnannyinibulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu ne byonna ebirimu, n'ensi ne byonna ebirimu, n'ennyanja ne byonna ebirimu. Malayika oyo n'agamba nti: “Tewakyali kulwa.
7
Naye mu kiseera ekyo, malayika ow'omusanvu ky'alifuuyiramu eŋŋombe ye, Katonda alituukiriza ekyama kye, nga bwe yategeeza abaweereza be abalanzi.”
8
Eddoboozi lye nawulira nga liva mu ggulu, ne nziramu okuliwulira nga liŋŋamba nti: “Genda okwate omuzingo omwanjuluze, oguli mu ngalo za malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”
9
Ne ŋŋenda eri malayika, ne mmusaba ampe omuzingo gw'akatabo. N'aŋŋamba nti: “Gukwate ogulye. Gujja kukukaayirira mu lubuto lwo, naye mu kamwa ko, gujja kuwoomerera ng'omubisi gw'enjuki.”
10
Ne nzigya omuzingo gw'akatabo mu ngalo za malayika, ne ngulya. Ne guwoomerera mu kamwa kange ng'omubisi gw'enjuki, naye bwe nagumira, ne gukaayira mu lubuto lwange.
11
Awo malayika n'aŋŋamba nti: “Oteekwa okuddamu okulanga ebyo ebiriba ku bantu abangi, ne ku mawanga, ne ku nnimi, ne ku bakabaka.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Gaabu Hantumya