Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu nga yeetooloddwa ekire, ng’ayambadde musoke ku mutwe gwe; amaaso ge nga gaakaayakana ng’enjuba ate ebigere bye nga byaka ng’omuliro. |
| 2 |
| Yali alina mu ngalo ze omuzingo gw’ekitabo omutono ng’agwanjuluzza, n’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono n’akiteeka ku lukalu. |
| 3 |
| N’aleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nga liri ng’okuwuluguma kw’empologoma. Ne wabaawo n’okubwatuka kwa mirundi musanvu olw’eddoboozi eryo. |
| 4 |
| Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali n’atera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga ligamba nti, “Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.” |
| 5 |
| Awo malayika gwe nalaba ng’ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, |
| 6 |
| n’alayira Oyo omulamu abeerera emirembe gyonna, eyatonda eggulu n’ebintu byonna ebirimu, n’atonda n’ensi n’ebintu byonna ebigirimu, n’atonda n’ennyanja ne byonna ebigirimu, ng’agamba nti, “Tewaliba kulwa nate. |
| 7 |
| Naye mu nnaku ez’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba anaatera okufuuwa ekkondeere, ekyama kya Katonda kiribikkulwa, nga bwe yabuulira abaddu be, bannabbi.” |
| 8 |
| Eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne liddamu ne liŋŋamba nti, “Twala omuzingo gw’ekitabo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.” |
| 9 |
| Ne ŋŋenda eri malayika ne mugamba ampe omuzingo gw’ekitabo ogwo omutono. N’aŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; mu kamwa ko guliwoomerera ng’omubisi gw’enjuki, naye guligulumbya olubuto lwo.” |
| 10 |
| Ne nziggya omuzingo ogwo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya, ne gumpomera ng’omubisi gw’enjuki, naye bwe nagumira ne gugulumbya olubuto lwange. |
| 11 |
| Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okuwa obunnabbi nate ku mawanga, n’ensi, n’ennimi ne bakabaka bangi.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/revelation/010.mp3
22
10