Luganda Bible
|
| 1 |
| Ne mpeebwa olumuli olufaanana ng'omuggo, malayika ng'ayogera nti Golokoka, ogere yeekaalu ya Katonda, n'ekyoto, n'abasinzizaamu. |
| 2 |
| N'oluggya oluli ebweru wa yeekaalu luleke ebweru, so tolugera; kubanga lwaweebwa ab'amawanga: n'ekibuga ekitukuvu balikirinnyiririra emyezi amakumi ana mu ebiri. |
| 3 |
| Nange ndibawa abajulirwa bange babiri, era baliragulira ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga, nga bambadde ebibukutu. |
| 4 |
| Abo gye mizeyituuni ebiri n'ettabaaza ebbiri eziyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi. |
| 5 |
| Era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe: era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa. |
| 6 |
| Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba eremenga okutonnya mu nnaku ez'okutegeeza kwabwe: era balina obuyinza ku mazzi okugafuula omusaayi, era n'okubonyaabonya ensi n'ebibonyoobonyo byonna, emirundi emingi nga bwe baagala. |
| 7 |
| Era bwe baliba nga bamaze okutegeeza kwabwe, ensolo eva mu bunnya obutakoma erirwana nabo, era eribawangula, era eribatta. |
| 8 |
| N'omulambo gwabwe guli mu luguudo lw'ekibuga ekinene, ekiyitibwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri, era Mukama waabwe mwe yakomererwa. |
| 9 |
| Era ab'omu bantu n'ebika n'ennimi n'amawanga baalabira omulambo gwabwe ennaku ssatu n'ekitundu, ne bataganya mirambo gyabwe okuziikibwa mu ntaana. |
| 10 |
| N'abo abatuula ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguza; era baliweerezagana ebirabo; kubanga bannabbi abo ababiri baabonyaabonya abatuula ku nsi. |
| 11 |
| Oluvannyuma lw'ennaku ziri essatu n'ekitundu, omwoyo gw'obulamu oguva eri Katonda ne guyingira mu bo ne bayimirira ku bigere byabwe okutya kungi ne kugwa ku bo abaabalaba. |
| 12 |
| Ne bawulira eddoboozi ddene eriva mu ggulu, nga libagamba nti Mulinnye okutuuka wano. Ne balinnya mu ggulu mu kire; n'abalabe baabwe ne babalaba. |
| 13 |
| Ne mu ssaawa eri ne wabaawo ekikankano ekinene, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kigwa; ne battibwa abantu kasanvu mu kikankano: n'abo abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne bawa ekitiibwa Katonda ow'omu ggulu. |
| 14 |
| Obubi obw'okubiri buyise: laba, obubi obw'okusatu bujja mangu. |
| 15 |
| Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n'emirembe. |
| 16 |
| N'abakadde amakumi abiri mu bana, abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda, |
| 17 |
| nga boogera nti Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, abaawo era eyabaawo; kubanga otutte amaanyi go amangi, n'ofuga. |
| 18 |
| Amawanga ne gasunguwala, n'obusungu bwo ne bujja, n'entuuko ez'okusaliramu omusango gw'abafu, n'ez'okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n'abatukuvu, n'abatya erinnya lyo, abato n'abakulu; n'ez'okwonooneramu aboonoona ensi. |
| 19 |
| Ne yeekaalu ya Katonda ey'omu ggulu n'ebikkulwa; ne walabika mu yeekaalu ye essanduuko y'endagaano ye; ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka n'ekikankano n'omuzira mungi. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/revelation/011.mp3
22
11