Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ekyewuunyisa ne kirabika ku ggulu: ne wabaawo omukazi ng'ayambadde enjuba, ate ng'omwezi guli wansi w'ebigere bye, ku mutwe gwe nga kuliko engule ya mmunyeenye kkumi na bbiri. |
| 2 |
| Yali lubuto, ng'alumwa, n'aleekaana mu bulumi obw'okuzaala. |
| 3 |
| Ekyewuunyisa ekirala ne kirabika ku ggulu: ne wabaawo ogusota ogunene ogumyufu, nga gulina emitwe musanvu, n'amayembe kkumi, nga ku buli mutwe kuliko engule. |
| 4 |
| Omukira gwagwo ne guwalula ekitundu ekimu ekyokusatu eky'emmunyeenye ez'oku ggulu, ne gukisuula ku nsi. Ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi eyali okumpi okuzaala, gulyoke gumire omwana we. |
| 5 |
| Omukazi n'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna, ng'akozesa omuggo ogw'ekyuma. Kyokka omwana we n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka. |
| 6 |
| Awo omukazi n'addukira mu ddungu, mu kifo ekyateekebwateekebwa Katonda, omukazi oyo bamuliisize eyo, okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga. |
| 7 |
| Olwo ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayeli ne bamalayika be ne balwanyisa ogusota. Ogusota nagwo ne gubalwanyisa ne bamalayika baagwo. |
| 8 |
| Naye ogusota ne guwangulwa. Gwo ne bamalayika baagwo, ne batakkirizibwa kwongera kusigala mu ggulu. |
| 9 |
| Ogusota ogwo ogunene, gwe musota ogw'edda oguyitibwa Omubi era Sitaani alimbalimba ensi zonna, ne gusuulibwa ku nsi, awamu ne bamalayika baagwo. |
| 10 |
| Ne mpulira mu ggulu eddoboozi ery'omwanguka, erigamba nti: “Kaakano Katonda waffe atulokodde. Alaze amaanyi ge, n'obwakabaka bwe, n'obuyinza bwa Kristo we, kubanga oyo alonkoma baganda baffe, n'abaloopa emisana n'ekiro mu maaso ga Katonda waffe, agobeddwa mu ggulu. |
| 11 |
| Baganda baffe baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'Endiga, n'olw'amazima, ge baategeeza abantu, ne bawaayo obulamu bwabwe okutuuka ne ku kufa. |
| 12 |
| Kale musanyuke mmwe eggulu n'abalirimu. Naye mmwe ensi n'ennyanja, zibasanze, kubanga Sitaani asse gye muli ng'alina obusungu bungi, ng'amanyi nti alina akaseera katono!” |
| 13 |
| Ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi, ne guyigganya omukazi eyazaala omwana ow'obulenzi. |
| 14 |
| Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, alyoke abuuke atuuke mu kifo kye mu ddungu, gy'alirabirirwa okumala emyaka esatu n'ekitundu ng'ogusota tegumutuukako. |
| 15 |
| Omusota ne guwandula amazzi okuva mu kamwa kaagwo, nga gali ng'omugga, ne gagoberera omukazi, gamukulugguse. |
| 16 |
| Naye ensi n'eyamba omukazi: n'eyasamya akamwa kaayo, n'emira omugga ogwava mu kamwa k'ogusota. |
| 17 |
| Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwanyisa ab'omu zadde lye abaasigalawo, abo bonna abakwata ebiragiro bya Katonda ne banywerera ku ebyo Yesu bye yabategeeza. |
| 18 |
| Awo ogusota ne guyimirira ku lubalama lw'Ennyanja. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/revelation/012.mp3
22
12