Luganda Bible
|
| 1 |
| Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene ak'ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby'enkomerero, kubanga mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukiririra. |
| 2 |
| Ne ndaba ng'ennyanja y'endabirwamu etabuddwamu omuliro; abava eri ensolo n'ekifaananyi kyayo n'omuwendo gw'erinnya lyayo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja y'endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda. |
| 3 |
| Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'endiga, nga boogera nti Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow'emirembe n'emirembe. |
| 4 |
| Ani atalitya, Mukama, n'ataliwa kitiibwa erinnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa bye eby'obutuukirivu birabise. |
| 5 |
| Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, yeekaalu eya weema ey'obujulirwa mu ggulu n'ebikkulwa: |
| 6 |
| ne muva mu yeekaalu bamalayika omusanvu abalina ebibonyoobonyo omusanvu nga bambadde amayinja, amalongoofu agamasamasa, era nga basibiddwa mu bifuba enkoba eza zaabu. |
| 7 |
| Ekimu eky'oku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde obusungu bwa Katonda, aba omulamu emirembe n'emirembe. |
| 8 |
| Ne yeekaalu n'ejjula omukka oguva mu kitiibwa kya Katonda ne mu maanyi ge; so tewali muntu eyayinza okuyingira mu yeekaalu, okutuusa ebibonyoobonyo omusanvu bya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/revelation/015.mp3
22
15