Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeeye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ettabaaza omusanvu eza zaabu, nti
Mmanyi ebikolwa byo, n'okufuba kwo n'okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba;
Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okolenga ebikolwa eby'olubereberye; bw'otalikola bw'otyo, njija gy'oli, era ndiggyawo ettabaaza yo mu kifo kyayo, bw'otalyenenya.
Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani: era okwata erinnya lyange, so teweegaana kukkiriza kwange era ne mu nnaku za Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, Setaani w'atuula.
Naye nnina ensonga ku ggwe si nnyingi, kubanga olina eyo abakwata okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okulya ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda.
Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule, nti
Era n'abaana be ndibatta n'olumbe; ekkanisa zonna ne zitegeera nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima: era ndiwa buli muntu mu mmwe ng'ebikolwa byammwe bwe biri.