Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya. Eggulu eryasooka n'ensi eyasooka byali biweddewo, n'ennyanja nga tekyaliwo. |
| 2 |
| Ne ndaba Ekibuga Ekitukuvu, Yerusaalemu Ekiggya, nga kikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba. |
| 3 |
| Ne mpulira eddoboozi ery'omwanguka nga lyogerera awali entebe ey'obwakabaka, nga ligamba nti: “Laba, kaakano ekisulo kya Katonda kiri mu bantu; anaabeeranga nabo. Baliba bantu be, Katonda yennyini anaabeeranga nabo, nga ye Katonda waabwe. |
| 4 |
| Era alisangula buli zziga mu maaso gaabwe. Waliba tewakyali kufa nga tewakyali kunakuwala, oba okukaaba, wadde obulumi, kubanga olwo eby'edda biriba biweddewo.” |
| 5 |
| Awo oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka n'agamba nti: “Kati ebintu byonna mbizza buggya.” Era n'agamba nti: “Wandiika ebigambo bino, kubanga bituufu, era byesigibwa.” |
| 6 |
| Ate n'aŋŋamba nti: “Ebintu bino byonna kati bituukiridde! Nze Alufa ne Omega, entandikwa n'enkomerero. Buli alina ennyonta, ndimuwa buwa amazzi ag'omu luzzi olw'obulamu n'anywa. |
| 7 |
| “Buli awangula, alifuna ebyo. Ndiba Katonda we, ye n'aba mwana wange. |
| 8 |
| Kyokka abati, n'abatakkiriza, n'aboonoonefu, n'abatemu, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebyo ebitali Katonda, n'abalimba bonna, omugabo gwabwe guliba mu nnyanja ey'omuliro ogwaka ennyo, kwe kufa okwokubiri.” |
| 9 |
| Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, ebijjudde ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero, n'ajja n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Jjangu nkulage Omugole, muk'Omwana gw'Endiga.” |
| 10 |
| Awo Mwoyo n'anjijako, malayika n'antwala ku lusozi olunene era oluwanvu, n'andaga Yerusaalemu ekibuga ekitukuvu, nga kikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda. |
| 11 |
| Okumasamasa kwakyo nga kuli ng'okw'ejjinja ery'omuwendo ennyo eriyitibwa yasipero, eritangalijja. |
| 12 |
| Kyaliko ekisenge ekikyetoolodde era ekiwanvu, nga kiriko emiryango kkumi n'ebiri, egiriko bamalayika kkumi na babiri, era nga giwandiikiddwako amannya g'ebika ekkumi n'ebibiri eby'Abayisirayeli. |
| 13 |
| Ebuvanjuba kyaliko emiryango esatu, mu bukiikakkono emiryango esatu, mu bukiikaddyo emiryango esatu, n'ebugwanjuba emiryango esatu. |
| 14 |
| Ekisenge ekyetoolodde ekibuga kyalina emisingi kkumi n'ebiri, nga giriko amannya g'abatume ekkumi n'ababiri, ab'Omwana gw'Endiga. |
| 15 |
| Malayika eyayogera nange yalina omuggo ogwa zaabu nga gwa kupima ekibuga, n'emiryango gyakyo, n'ekisenge kyakyo ekikyetoolodde. |
| 16 |
| Enjuyi z'ekibuga ekyo ennya zaali zenkana: ng'obuwanvu bwakyo bwenkana n'obugazi bwakyo. Awo malayika n'apima ekibuga ekyo n'omuggo gwe, ne kiweza kilomita ng'enkumi bbiri mu bina, obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo nga bwenkanankana. |
| 17 |
| Era n'apima n'ekisenge kyakyo ekikyetoolodde, ne kiweza mita nga nkaaga obugulumivu. Ekipimo ekikozesebwa abantu, malayika kye yapimisa. |
| 18 |
| Ekisenge ekyo ekyetoolodde ekibuga, kyali kizimbiddwa n'amayinja ag'omuwendo ennyo aga yasipero. Kyo ekibuga nga kya zaabu mwereere, atangalijja ng'ekirawuli. |
| 19 |
| Emisingi gy'ekisenge ekyetoolodde ekibuga gyali giyooyooteddwa n'amayinja ag'omuwendo ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n'amayinja aga yasipero, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kaludeedoni, ogwokuna aga simaragido, |
| 20 |
| ogwokutaano aga sandonikisi, ogw'omukaaga aga sarudiyo, ogw'omusanvu aga kirisolito, ogw'omunaana aga berulo, ogw'omwenda aga topazi, ogw'ekkumi aga kirusopuraso, ogw'ekkumi n'ogumu aga yakinto, ogw'ekkumi n'ebiri aga ametisto. |
| 21 |
| Ate emiryango ekkumi n'ebiri, gyali amayinja ag'omuwendo ennyo aga luulu kkumi n'abiri, nga buli mulyango gukoleddwa n'ejjinja lya luulu limu. Enguudo z'ekibuga ekyo nga zaabu mwereere, atangalijja ng'ekirawuli. |
| 22 |
| Mu kibuga ekyo ssaalabamu Ssinzizo, kubanga Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna era n'Omwana gw'Endiga, bo ye Ssinzizo mu kyo. |
| 23 |
| Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba, wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw'Endiga ye ttaala yaakyo. |
| 24 |
| Abantu b'omu nsi yonna banaatambuliranga mu kitangaala kyakyo, ne bakabaka b'oku nsi ne baleeta ebyobugagga byabwe mu kyo. |
| 25 |
| Olunaku lwonna emiryango gyakyo tegiggalwenga n'akatono, kubanga eyo teriba kiro. |
| 26 |
| Ekitiibwa n'ebyobugagga eby'amawanga, birireetebwa mu kyo. |
| 27 |
| Naye tekiriyingirwamu kintu na kimu ekitali kirongoofu, wadde omuntu n'omu akola eby'ensonyi, oba alimba. Wabula abo bokka abaawandiikibwa mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga, be baliyingira mu kibuga ekyo. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/revelation/021.mp3
22
21