Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba bamalayika bana, nga bayimiridde ku nsonda ennya ez'ensi, nga baziyiza embuyaga ennya ez'ensi, waleme kubaawo mbuyaga ekunta ku nsi, oba ku nnyanja, wadde ku muti n'ogumu.
Ate ne ndaba malayika omulala ng'ayambuka ng'ava ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda Nnannyinibulamu. N'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka, ng'ayita bamalayika abana abaalagirwa okukola akabi ku nsi ne ku nnyanja.
N'agamba nti: “Temukola kabi ku nsi, oba ku nnyanja, wadde ku miti, okutuusa lwe tulimala okuteeka akabonero mu byenyi by'abaweereza ba Katonda waffe!”
Ebyo bwe byaggwa, ne ntunula, ne ndaba ekibiina kinene eky'abantu, omuntu b'atayinza kubala. Baava mu mawanga gonna ne mu bika byonna, ne mu bantu bonna, ne mu nnimi zonna. Ne bayimirira mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'Omwana gw'Endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, nga bakutte n'amatabi g'enkindu.
Ne mmuddamu nti: “Mukama wange, ggwe omanyi.” N'aŋŋamba nti: “Bano be baayita mu kubonaabona okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw'Omwana gw'Endiga.
Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda, ne baweereza emisana n'ekiro mu Ssinzizo lye. Era oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, anaabeeranga nabo ng'abakuuma.
kubanga Omwana gw'Endiga, ali wakati w'entebe ey'obwakabaka, anaabalabiriranga, abakulembere, abatuuse ku nsulo z'amazzi ag'obulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”