Awo oluvannyuma lwa Abimereki ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, mutabani wa Dodo, omusajja wa Isakaali, okulokola Isiraeri; n'abeera mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi.
Abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne baweereza Babaali, ne Asutaloosi ne bakatonda ab'e Busuuli, ne bakatonda ab'e Sidoni, ne bakatonda ba Mowaabu, ne bakatonda ab'abaana ba Amoni, ne bakatonda ab'Abafirisuuti; Mukama ne bamuvaako ne batamuweereza.
Ne beeraliikiriza ne bajooga abaana ba Isiraeri omwaka ogwo: (baajoogera) emyaka kkumi na munaana abaana ba Isiraeri bonna abaali emitala wa Yoludaani mu nsi y'Abamoli eri mu Gireyaadi.
Abantu, abakulu ab'e Gireyaadi, ne bagambagana nti Omusajja aluwa alisooka okulwanyisa abaana ba Amoni? oyo ye aliba omukulu w'abo bonna abatuula mu Gireyaadi.