Omukazi ow'e Gireyaadi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi; abaana ba mukazi we bwe baakula, ne bagoba Yefusa; ne bamugamba nti Tolisika mu nnyumba ya kitaffe; kubanga gw'oli mwana wa mukazi mulala.
Kabaka w'abaana ba Amoni n'addamu ababaka ba Yefusa nti Kubanga Isiraeri yanziyako ensi yange bwe yayambuka okuva mu Misiri, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yoludaani: kale kaakano zizze ensi ezo lwa mirembe.
Isiraeri n'alyoka atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'ayogera nti Nkwegayirira, ka mpite mu nsi yo: naye kabaka wa Edomu n'atawulira: Era n'atumira bw'atyo kabaka wa Mowaabu: naye n'atayagala: Isiraeri n'atuula mu Kadesi.
Awo n'alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, n'atuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, ne basiisira emitala wa Alunoni; naye ne batatuuka mu nsalo ya Mowaabu, kubanga Alunoni gwali nsalo ya Mowaabu:
Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni kabaka w'Abamoli, kabaka w’e Kesuboni; Isiraeri n'amugamba nti Tukwegayirira; ka tuyitemu nsi yo ŋŋende mu kifo kyange.
Mukama Katonda wa Isiraeri; n'agabula Sikoni n'abantu be bonna mu mukono gwa Isiraeri; ne babatta: Isiraeri n'alyoka alya ensi yonna ey'Abamoli, be baatuula mu nsi eyo.
Isiraeri bwe yali atuula mu Kesuboni n'ebyalo byakyo, ne mu Aloweri n'ebyalo byakyo, ne mu bibuga byonna ebiri ku mabbali ga Alunoni, emyaka ebikumi bisatu; ekyabalobera ki okubiddamu okubirya mu kiseera ekyo?
Awo omwoyo gwa Mukama ne gulyoka gujja ku Yefusa, n'ayita mu Gireyaadi ne Manase, n'ayita mu Mizupe eky'omu Gireyaadi, n'ava e Mizupe eky'omu Gireyaadi n'ayita n'agenda eri abaana ba Amoni.
N'abakuba okuva ku Aloweri okutuusa ng'ojja e Minnisi, bye bibuga abiri, n'okutuuka ku Aberukeramimu, n'abatta bangi nnyo: Abaana ba Amoni bwe baajeemulwa bwe batyo mu maaso g'abaana ba Isiraeri:
Yefusa n'ajja e Mizupa eri ennyumba ye, era, laba, muwala we n'afuluma okumusisinkana ng'alina ebitaasa era nga bazina: era ye yali omwana we omu; teyalina wa bulenzi newakubadde ow'obuwala wabula ye.
Awo olwatuuka bwe yamulaba n'ayuzaayuza engoye ze n'ayogera nti Zinsanze, muwala wange! onnakuwazizza nnyo, naawe oli ku muwendo gw'abo abanneeraliikiriza: kubanga nayasama akamwa kange eri Mukama, so siyinza kuddirira.
N'amugamba nti Kitange, wayasama akamwa ko eri Mukama; nkola ng'ekigambo bwe kyali ekyava mu kamwa ko; kubanga Mukama yakuwalanyizza eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.