Abantu b'omu Efurayimu ne bakunga eggye, ne basomoka ne balaga e Zafoni, ne bagamba Yefuta nti: “Lwaki wagenda okulwanyisa Abammoni n'ototuyita kugenda naawe? Tugenda kukwokera mu nnyumba yo.”
Abagileyaadi ne bakwata emisomoko gy'oku Yorudani egisomosa mu Efurayimu. Oli mu bakaawonawo mu Efurayimu bwe yagambanga nti: “Ka nsomoke,” ng'abasajja b'omu Gileyaadi bamubuuza nti: “Oli Mwefurayimu?” Bwe yagaananga nti “Nedda,”
nga bamugamba nti: “Kale gamba nti: ‘Shibboleti,’ ” ye ng'agamba nti: “Sibboleti,” kubanga yali tasobola kukyatula bulungi; nga bamukwata nga bamuttira awo wennyini ku misomoko gy'oku Yorudani. Mu budde obwo emitwalo ena mu enkumi bbiri be baafa mu Efurayimu.
Yalina batabani be amakumi asatu ne bawala be amakumi asatu. Yafumbiza bawala be ebweru w'ekika kye, ne batabani be n'abawasiza abakazi ng'abaggya mu bika ebirala. Yalamula Yisirayeli okumala emyaka musanvu.