Kitaawe n'agamba nti Mazima mbadde ndowooza nga wamukyayira ddala; kyennava muwa munno: muganda we omuto tamusinga bulungi? nkwegayiridde, mutwale mu kifo kye.
Awo bwe yamala okukoleeza ebitawuliro, n'abita okugenda mu ŋŋaano eri mu nnimiro ey'Abafirisuuti, n'ayokya ebinywa era n'eŋŋaano eri mu nnimiro, era n'ensuku z'emizeyituuni.
Awo Abafirisuuti ne balyoka boogera nti Akoze bw'atyo ye ani? Ne boogera nti Samusooni mukoddomi w'Omutimuna, kubanga yatwala mukazi we n'amuwa munne. Abafirisuuti ne bayambuka, ne bookya omukazi ne kitaawe nmuliro.
Awo abasajja enkumi ssatu aba Yuda ne balyoka baserengeta eri olwatika olw'omujjinja lya Etamu, ne bagamba Samusooni nti Tomanyi nga Abafirisuuti batufuga? kale kino kiki kye watukola? N'abagamba nti Bo nga bwe bankola, nange bwe nnabakola.
Ne boogera naye nga bagamba nti Nedda; naye tunaakusibira ddala, ne tukugabula mu mukono gwabwe: naye mazima tetuukutte. Ne bamusibya emigwa ebiri emiggya, ne bamulinnyisa okuva mu jjinja.
Bwe yatuuka e Leki, Abafirisuuti ne boogerera waggulu bwe baasisinkana naye: omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'emigwa egyali ku mikono gye ne gifuuka ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro, ebyali bimusibye ne biva ku mikono gye.