(Ne babuulira) ab'e Gaza nti Samusooni atuuse wano: Ne bamuzingiza, ne bamuteegera mu mulyango gw'ekibuga okukeesa obudde, ne basirika ekiro kyonna, nga boogera nti Obudde bukye tulyoke tumutte.
Abakungu b'Abafirisuuti ne bayambuka gy'ali, ne bamugamba nti Musendeseade olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, era kwe tulisinziira okumusobola, tumusibe tumujeeze: naffe tulikuwa buli muntu ku ffe ebitundu ebya ffeeza lukumi mu kikumi.
Era omukazi yalina abateezi abaabeera mu nju ey'omunda: N'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'akutula enkolokolo, ng'omugwa gw'obugoogwa bwe gukutuka nga gutuuse ku muliro: Awo amaanyi ge ne gatategeereka:
Awo Derira n'addira emigwa emiggya, n'amusibya egyo, n'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. Era abateezi baali bali mu nju ey'omunda. N'agikutula ku mikono gye ng'ewuzi.
N'amugamba nti Oyinza otya okwogera nti Nkwagala, omutima gwo nga teguli mange? waakanduulira emirundi gino esatu, so tonnambuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka.
N'amubuulira byonna (ebyali mu) mutima gwe, n'amugamba nti Akamwano tekayitanga ku mutwe gwange; kubanga ndi Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange: bwe ndiba nga mmwereddwa, amaanyi gange ne galyoka ganvaako, ne nfuuka nmunafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.
N'ayogera nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'azuukuka mu tulo twe n'ayogera nti Naafuluma ng'obw'edda, ne nneekunkumula. Naye yali tamanyi nga Mukama amulese.
Awo olwatuuka emitima gyabwe bwe gyali gisanyuse, ne boogera nti Muyite Samusooni atunyumizeeko. Ne bayita Samusooni okumuggya mu nnyumba ey'ekkomera: n'abanyumizaako (ng'ali) mu maaso gaabwe: ne bamuteeka wakati w'empagi:
Era enju yali ejjudde abasajja n’abakazi; era abakungu b'Abafirisuuti baali bali awo bonna; ne waggulu ku nju kwaliko abasajja n'abakazi nga nkumi ssatu abaali batunuulira Samusooni ng'abanyumizaako.
Awo Samusooni n'akaabira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda, njijukira, nkwegayirira, ompe amaanyi, nkwegayirira, omulundi guno gwokka, ai Katonda, mpalane eggwanga mangu ago ku Bafirisuuti olw'amaaso gange gombi.
Samusooni n'ayogera nti Nfiire wamu n'Abafirisuuti. N'akutama n'amaanyi ge gonna; enju n'egwa ku bakungu ne ku bantu bonna abaali omwo. Bwe batyo abaafa be yattira mu kufa kwe baali bangi okusinga be yatta nga mulamu.
Awo baganda be n'ennyumba yonna eya kitaawe ne baserengeta ne bamutwala, ne bamwambusa, ne bamuziika wakati w’e Zola ne Esutaoli mu kifo eky'okuziikangamu ekya Manowa kitaawe. Era yalamulira Isiraeri emyaka abiri.