Abaana ba Isiraeri ne boogera nti Aluwa mu bika byonna ebya Isiraeri atayambuka eri ekkuŋŋaaniro eri Mukama? Kubanga baali balayidde ekirayiro ekikulu ku oyo atayambuka eri Mukama e Mizupa nga boogera nti Talirema kuttibwa:
Ne boogera nti Kika ki ku bika bya Isiraeri ekitayambuka eri Mukama e Mizupa? Era, laba, mu Yabesugireyaadi temwava muntu okugenda mu lusiisira eri ekkuŋŋaaniro.
Ekibiina ne kitumayo abasajja kakumi mu enkumi bbiri ku abo abasinga obuzira, ne babalagira nga boogera nti Mugende mutte n'obwogi bw'ekitala abatuula mu Yabesugireyaadi, wamu n'abakazi n'abaana abato.
Ne balaba mu abo abatuula mu Yabesugireyaadi abawala abato bina; abatamanyanga musajja okusula naye: ne babaleeta mu lusiisira e Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani.
Ne boogera nti Laba, waliwo embaga ya Mukama buli mwaka mu Siiro, ekiri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'e Beseri, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'oluguudo oluva e Beseri olwambuka e Sekemu; ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Lebona.
mutunule, era, laba, abawala ab'e Siiro bwe balifuluma okuzina mu mizannyo gyaffe, ne mulyoka muva mu nsuku, mukwate buli muntu mukazi we ku bawala ab'e Siiro, mugende mu nsi ya Benyamini.
Awo olulituuka bakitaabwe oba baganda baabwe bwe balijja okutuwoleza, ne tubagamba nti Mubatuwe lwa kisa: kubanga tetwabanyagira buli muntu mukazi we mu ntalo: so temwababawa; kaakano mwandizzizza omusango.
Awo abaana ba Benyamini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi ku abo abaazina, ng'omuwendo gwabwe bwe gwali abo be baanyaga: ne baddayo mu busika bwabwe, ne bazimba ebibuga, ne batuula omwo.